Dr. Lugoloobi alabude abasawo okukomya okwebulankanya ku mirimu

Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y'e Wakiso Dr. Mathias Lugoloobi alabude abasawo okukomya okwebulankanya ku mirimu n’abakuutira bulijjo okufangayo ennyo ku balwadde .

Dr. Lugoloobi alabude abasawo okukomya okwebulankanya ku mirimu
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision

Alaze okwenyamira nti bangi bayayaanira okufuna emirimu naye olumala okugifuna ate nga batandika okwesuulirayo ogwa nnaggamba ekintu ekiviirideko okwongera okuvumaganya gavumenti .

Okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okulonda obukulembeze obupya obukiikirira abasawo Abasiraamu mu disitulikiti y'e Wakiso mu kibiina mwe beegattira ekya Wakiso Islamic Medical Association of Uganda.

Lugolobi akuutidde abakulembeze b’abasawo abalondeddwa okuyambako okukubiriza abasawo okubeera ab’obuvunaanyizibwa eri abantu be baweereza era n’abasaba okwongera okukolera awamu ewatali kweyawulayawula .

Dr.  Anwar Kakeeto eyalondedwa ku kifo kya ssentebe w’akakiiko k’abasawo Abasiraamu e Wakiso , yeebazizza banne olw’okumussaamu obwesige n’akakasa nti baakwongera okutuusa obujjanjabi ku bantu okutuukira ddala ku muntu owa wansi ate ku bwereere .

Polof. Majidu Kagimu akulira ekibiina kino omwegattira abasawo Abasiramu yategeezezza nti ekigendererwa kyabwe kwe kulaba nga bakuuma eddiini ssaako n’okwejjukanya nga ku by’obulamu okwongera okutereeza enkola y’emirimu n’okutuusa obuweereza ku balwadde ewatali kubasosolamu .

Mu nsisinkano eno bakubaganyiza ebirowoozo ku ndwadde z’amannyo ezeeyongede ennyo naddala mu baana ne bakubiriza abazadde okukendeeza okuwa abaana baabwe eby’okulya ebiwoomerera n’okufaayo okubalongoosa amannyo obutaliibwa buwuka .