Abalwanyi ba Genero Prigozhin batiisizza okuddamu nokulumba Moscow

Abalwanyi bamasinale ababadde baduumirwa Genero Prigozhin nga basinziira mu nsi ya Belarus gye beekukuma oluvannyuma lw’okugezaako okuwamba Putin, olwawulidde amawulire g’okufa kwa mukama waabwe, baalabudde Gavumenti ya Russia nti singa kiba kituufu nti mufu ka kugijjuutuka.

Abalwanyi ba Genero Prigozhin batiisizza okuddamu nokulumba Moscow
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Prigozhin #Putin #Russia #Moscow

Abalwanyi bamasinale ababadde baduumirwa Genero Prigozhin nga basinziira mu nsi ya Belarus gye beekukuma oluvannyuma lw’okugezaako okuwamba Putin, olwawulidde amawulire g’okufa kwa mukama waabwe, baalabudde Gavumenti ya Russia nti ssinga kiba kituufu nti mufu ka kugijjuutuka.

Bano abeekutte obutambi bwa vidiyo nga bambadde obukookolo, baalumirizza Gavumenti ya Putin okucojjanya mukama waabwe ate nga yabayamba okuwamba ebibuga bya Ukraine ebiwera, ne balabula nti we bakakasiza nti mufu, baakuddamu okulumba basiguukulule Putin.

Mu balala abagambibwa okufiira ku nnyonyi eno kuliko abaduumizi ba Wagner abalala omuli: Sergey Propustin, Yevgeny Makaryan, Alexander Totmin, Valery Chekalov ne Nikolay Matyuseyev, kw’ossa abakozi b’oku nnyonyi eno nabo abataalutonze.