PULEZIDENTI wa Russia Vladimir Putin ayongeddemu ggiya mu lutalo lwa Ukraine oluvannyuma lw’okufuna abalwanyi bamasinale okuva mu Africa.
Abalwanyi bano Putin abawadde ebyokulwanyisa eby’omulembe omuli ne bye yafunye
mu North Korea ne Iran bye beeyambisizza okukuba tawuni za Ukraine ez’enjawulo ne bazireka nga ziteta.
Putin w’ayungulidde Abafrica nga ne gavumenti ya Ukraine yaakafuna ebyokulwanyisa
ebipya okuva mu America era kati olutalo kakuuse luyinda mu bibuga bya Ukraine eby’enjawulo nga bamasinale emmundu bagikuba nkuba ejja.
Olutalo kati lusinga mu ssaza ly’e Kharkiv awali ekibuga Kharkiv ekyokubiri mu bunene mu Ukraine ng’eyo Putin gye yasindise bamasinale be yaggye mu Africa okusinziira ku mawulire ga Defence Express. Kigambibwa nti Putin amagye yagaggye Mali,
Central African Republic, Libya n’awalala gye gazze galwanira okuva nga Putin akyakozesa bamasinale ba Wegner abaali bakulemberwa Yevgeny Prigozhin eyafiira mu kabenje k’ennyonyi bwe yali yaakeegeza mu kuwamba mukama we Putin omwaka oguwedde.
Putin okugezaako okulumba ekibuga Kharkiv ekiri okumpi n’ensalo ya Ukraine ne Russia, yakiggye ku Ukraine okulumbanga Russia ng’esinziira mu kibuga ekyo.
Ensonga endala kwagala kukooya magye ga Ukraine ng’agaziya olutalo ng’ate akimanyi nti matono ku ga Russia. Ayagala n’okugawugula gave mu kitundu ky’amaserengeta
n’obuvanjuba (South East) naddala mu kibuga Chasiv Yar okulwana okw’amaanyi gye kuli nga Putin ayagala okukiwamba kimwanguyizm okusinziira awo akube
ebibuga ebirala okuli Kramatorsk ne Sloviansk ebisigadde ng’ebinenem byokka mu kitundu ekyo by’atannawamba.
PUTIN NE ZELENSKY BAGOBYE ABADUUMIZI AB’AMAANYI
Putin yeewuunyisizza ensi yonna bwe yagobye minisita w’ebyokwerinda owa Russia
mu nkyukakyuka ze yakoze mu kabineeti nga yaakalayira. Abadde minisita wa difensi, Sergei Shoigu yagobeddwa n’aleka buli omu nga yeewuunya kubanga babadde bakolagana bulungi ng’ate w’amugobedde akaseera kabadde kalungi eri Russia mu lutalo. Kyokka Shoigu abadde alin obutakkaanya mu bannamagye
naddala eyali akulira Wegner eyafa ng’amukukkulumira nti yagaana okumuwanga emmundu ez’amaanyi.
Yamusikizizza Andrei Belousov atali mujaasi nga yasoma bya mbalirira. Kigambibwa nti Shoigu abadde alina abajaasi abanene be yeekobaana nabo ne balya ssente
kwe kuleeta amanyi okukwata ssente obulungi. Pulezidenti wa Ukraine Volodymyr Zelenskyy naye yagobye abadde aduumira amagye mu ssaza ly’e Kharkiv. Brigadier General Mykhailo Drapatyi yamugobye ng’amunenya butategeka kimala, Russia n’erumba ebitundu eby n’ekuba ebyalo byonna ebyo nga tagyetegekedde kimala