Putin akoze ddiiru empya n’aba Wagner ku Ukraine

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, azze ku mmeeza okubala olutalo lwa Ukraine, gye biggweeredde nga atudde n’omuduumizi omupya ow’ekibinja kya ba Wagner, ne bakkiriziganya ku ssente n’ebyokulwanyisa by’alina okubawa.

Abalwanyi ba Wagner nga basonga.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, azze ku mmeeza okubala olutalo lwa Ukraine, gye biggweeredde nga atudde n’omuduumizi omupya ow’ekibinja kya ba Wagner, ne bakkiriziganya ku ssente n’ebyokulwanyisa by’alina okubawa. Col(Rtd). Andrey Nikolaevich Troshev banna Wagner gwe baakazaako erya “Sedoi”, Putin gw’asisinkanye ne bakutula ddiiru ey’okuzzaayo basajja be aba Wagner mu ddwaaniro bakekeze ennyago.
Ono y’omu ku baali abasajja ab’oku lusegere lw’eyali omutandisi w’ekibinja kya Wagner, Genero Yevgeny Prigozhin eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi nga August 23, 2023 bwe yabadde ava mu kibuga kya Russia ekikulu, Moscow ng’agenda mu kirala ekya St Petersburg. Troshev olwasisinkanye Putin yakkirizza okumukolera n’amuwa bajeti ya buwumbi gye yeetaaga okuddamu okukung’aanya abalwanyi ba Wagner abazze mu ddwaaniro.
Mu nsisinkano eyabaddemu Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebyokwerinda Yunus-Bek Yevkurov, Putin yategeezezza Troshev, nti ayagala akumeekume abalwanyi ba Wagner abazze mu ddwaaniro kimutaase ku basajja ba Ukraine abafunze ekyonga mu lutalo olunyiinyiitidde ennyo mu kibuga Bakhmut mu buvanjuba bwa Ukraine. Olwavudde mu nsisinkano ne Putin, Troshev, yategeezezza omukutu gw’amawulire ogwa TASS News nti bannansi ba Russia bonna bakimanyi nti buvunaananyizibwa bwa buli munnansi okukwatirako Putin okuwangula olutalo. N’agamba nti mu njogerezeganya baazudde w’alina okutandikira ssaako okumuwa obuvunaanyizibwa okukumaakuma abaasaasaana
badde bakolere ensi yaabwe, nga bawangula olutalo.

SSENTE ZE YAMUBALIDDE

PUTIN olutalo lwakwongera okumukamula, kubanga bakkaanyizza okutandika
n’obuwumbi 150 eza Ruble za Russia (bwe buwumbi 153 eza Doola), akole ogw’okukumaakuma abalwanyi ba Wagner yonna gye baasaasaanira oluvannyuma lw’eyali mukama waabwe Prigozhin okufuna obutakkaanya ne Putin n’agezaako n’okubaduumira okuwamba Gavumenti ya Russia. Bulooga, omu ku bakubi ba pokoppoko wa Putin abagobererwa ennyo mu by’olutalo,
Rybar, yategeezezza nti eggulo ku Lwomukaaga abamu ku balwanyi ba Wagner baabadde batandise okuddamu okukung’aana mu kibuga Bakhmut, ekimu ku bye
baayambako Russia okuwamba nga we bajja okusinziira okuddamu okulumba.
Rybar yagambye nti pulaani eri ku kusooka kweddiza bibuga okuli Klishchiivka (ekiri mayiro mukaaga zokka okuva e Bakhmut) n’ekya Andriivka, Ukraine bye yawambye wiiki wedde.
Kino kyongedde okulaga nti Putin wa kuwaayo buli ekisoboka okulaba ng’awangula olutalo luno ng’ekimu ku byewuunyisa ensi mu June, nga Putin amaze okwawukana ne Prigozhin kwe kutegeeza nti buli kimu ekikwata ku balwanyi ba Wagner Gavumenti ya Russia ye yali ekisasula mwe yayogerera
emiwendo gya ssente egyakanga n’abakulembeze b’afuga nabo.
Putin mu nsisinkano ne Minisitule y’ebyokwerinda yategeeza nti okuva mu 2022 okutuuka mu May wa 2023, Gavumenti yali yaakabasaasaanyaako akawumbi ka Doola eza America kalamba mu kubasasula emisaala, ng’abasasudde obuwumbi bwa Doola 140.17 ku yinsuwa y’obulamu ne ssente endala entonotono kwossa okubawa ebyokulwanyisa ebyomulembe bye baakozesanga mu lutalo.
Omu ku basunsula ensonga z’olutalo luno, Pavel Felgenhauer, yategeezezza omukutu gwa Al Jazeera nti ekibadde kisibye abajaasi ba Wagner bangi obutadda
mu ddwaaniro bwe butaagala] kukolera wansi wa minisitule ya Russia ey’ebyokwerinda butereevu, nga kati olwabatadde wansi w’omu ku baali bakama baabwe, Troshev ba kudduka za mbiro baddeyo batokose emmundu.

COL. TROSHEV Y’ANI?

Colonel Andrey Troshev, eyakazibwako erya ‘Sedoi’, munnamagye wa Russia eyawummula era omu ku batandisi b’ekibinja kya Wagner Group, ng’azze ateekebwako envumbo amawanga ga Bulaaya nga Bufalansa n’omukago gwa
Bulaaya ogwa European Union olw’ebikolobero eby’obukamwe by’azze aduumira.
lOno avunaanibwa okusindika abalwanyi ba Wagner e Syria abazze batigomya abayeekera e Syria n’okuttanga abantu baabulijjo abatalina musango, naddala mu
kitundu kya Deir ez-Zor. lOno olw’okuduumira obulungi mu lutalo lw’e Afghanistan, Gavumenti yamutikkira amayinja ag’omuwendo aga Red Star
agaava edda mu biseera bya Soviet Union nga gaweebwa omuntu aba ayolesezza obukugu obw’enjawulo mu lutalo kyokka waayita mbale n’ava mu magye ne yeegatta ku Prighozin okutandika ekibinja kya Wagner.
lMu kwongera amaanyi mu lutalo, Putin yasoose kusisinkana omukulembeze w’ekitundu kya Russia ekya Chechen, Ramzan Kadyrov, Ukraine gw’ebadde
egamba nti mulwadde muyi. lMandeevu Kadyrov, omuwagizi ennyo owa Putinm abadde amaze ebbanga nga talabikako mu lujjudde ng’aba Ukraine bagamba nti baamukuba amasasi n’ayisibwa bubi nnyo nti era ali mu kkoma, kyokka mu kusisinkana Putin ku Lwokutaano yalabise nga mulamu tteke era n’asuubiza nti wa kwongera okuwa Putin amagye g’ekitundu kye gayambeko mu lutalo lw’e Ukraine.