ABALWANYI ba Wagner baluse pulaani ey’omutawaana ennyo, okwesasuza ku Putin gwe balumiriza okutta mukama waabwe, Genero Yevgeny Prigozhin.
Mu pulaani eno erimu n’amawanga ana (4) era abalwanyi ba Wagner abasukka mu 25,000 bawaga okukola kyonna ekisoboka okutta Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin gwe bagambye nti baagala omutwe gwe.
Ng’oggyeeko omutwe gwa Putin, abasajja ba Prigozhin bawera nkolokooto okumiza omusu buli ssekinnoomu eyawuliddeko, eyategeddeko n’abeetabye mu lukwe lw’okumutta.
Baweze okukozesa obukodyo bwa bamuntunsolo bwonna obwabatendekebwa omuli okukuba ssabbaawa, okutega n’okwetu-lisizaako bbomu, okuttisa obutwa, okukuba ennyonyi n’obukugu bwonna obw’ekikomando omusaayi gwa mukama waabwe guleme kuyiikira bbule. Kigambibwa nti n’amawanga gano 4 agasirikiddwa gaabatuukiridde dda e Beralus, abasinga gye bali ne gabasuubiza ebyokulwanyisa ebyomulembe babyeyambise okukuba Putin ne basajja be omuli ne minisita w’ebyokwerinda mu Russia, Sergei Shoigu abadde akabwa n’engo ne Prigozhin.
Bino we bijjidde nga Putinyaakeewakana nga bw’ataabadde mu lukwe olukuba ennyonyi omwabadde Prigozhin (omutandisi wa Wagner) n’omuduumizi w’ekibinja kya bamasinale kino, Dmitry Utkin.
Putin ku Lwomukaaga yategeezezza nti abamussaako eky’okutta ssaabalwanyi Prigozhin bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo kubanga abadde n’obusobozi obumuyita ne batuula ku mmeeza ne bateesa. Ono era ku Lwomukaaga yatadde omukono ku kiwandiiko ekiragira abalwanyi ba Wagner bonna okwewandiisa badde wansi w’amagye ga Russia nga balina n’okukuba ekirayiro, ekintu Prigozhin ky’abadde yagaana okuva lwe yagezaako okuwamba obuyinza mu Russia mu June w’omwaka guno.
Abalwanyi ba Wagner olwawulidde amawulire ga mukama waabwe okufiira mu kabenje, baalabuliddewo nti ssinga gakakasibwa baakulumba Moscow