UKRAINE ezzizza ku bbali eby’olutalo mw’ettunkira ne Russia n’esindika basajja baayo ab’ekibinja kya bakkomando aba Security Service of Ukraine abaalumbye ne bakuba enfo za bamasinale ba Wagner abaapangisibwa Genero Mohamed Hamdan Dagalo (Hemedti), ow’ekibinja kya Rapid Support Forces okubalwanirako e Sudan.
Okusinziira ku kunoonyereza kw’omukutu gwa CNN ogw’e America, okulwanagana okwabaddemu okukozesa obunyonyi obwevuga bwokka obwa Drone obwakubye ebifo omwabadde abakambwe ba Wagner, kwabaddemu bakkomando ba Ukraine ab’ekibinja kya SBU.
Kuno kwalese nga kusensebudde enfo z’aba Wagner n’aba Rapid Support Forces (RSF), abazze balwanyisa amagye ga Sudan agali mu buyinza okuva mu April w’omwaka guno.
Aba CNN baafulumizza obutambi obukakasa nti aba SBU be baakozesezza Drone ezaabaludde ebizimbe bano mwe baabadde beekwese n’okwokya emmotoka ennwaanyi kwe babadde batambulira.
Bagamba nti okulwanagana kuno kwabaluseewo nga September 8, 2023 nga waakayita ennaku bbiri zokka ng’ekibinja kya Wagner kisindiseeyo abasajja baakyo abaagendedde ku bimotoka ebikozesebwa mu ntalo n’emmundu ez’amaanyi okuyambako aba RSF.
Drone zino zaakubye mu nfo nga 10 naye nga enkozesa yaazo n’ennwaana y’eyo yennyini eya bamuntunsolo b’e Ukraine abaatendebwa America ne Bungereza.
Kigambibwa nti okulwanagana okwamaze eggobe mu kibya kwabaddewo ku Ssande ewedde era olwamaze okukuba abalabe ne balaba nga babagonzezza, bakkomando bano bazzeeyo okwabwe bubeefuke ne Russia, newankubadde akulira Gavumenti y’amagye eriko, Genero Abdel Fattah al-Burhan abadde tannanyega ku nsonga eno.
Eggye lya bamasinale ba Wagner Group lizze lyogerwako nnyo mu ntalo ezizze zibaawo mu Africa naddala mu Gavumenti z’ensi ezikolagana ne Russia nga kigambibwa nti ne ku lunaku, abadde akulira ekibinja kino, Genero Yevgeny Prigozhin lwe yagwa ku kabenje k’ennyonyi mwe yafiira, yali ava mu Africa mu Niger.
Aba Wagner kigambibwa nti balabiddwaako nga beetaba mu nsi endala ezizze zibaamu obusambattuko, gamba nga Mali, Central African Republic, Madagascar, Libya ne Mozambique.
Okuva April 15, 2023, e Sudan waagwayo akasambattuko, eggye lya Sudan erya SAF bwe lyatandika okulwanagana n’ekiwayi kya Paramilitary Rapid Support Forces.