ABALWANYI ba Wagner bongedde okuwera nga bwe bagenda okulwana okutuuka ku muntu asembayo okutuusa nga beesasuzza olw’okuttibwa kwa mukama waabwe Ssaabalwanyi Yevgeny Viktorovich Prigozhin.
Balonze bagenero basatu (3), abasinga okubeera ab’omutawaana mu Wagner ne babakwasa obuvunaanyizibwa obw’okukola pulaani era n’okugissa mu nkola okuwoolera eggwanga ku kuttibwa kwa Prigozhin.
Bagenero abasatu abalondeddwa ye; Genero Mikhail Mizintsev eyakazibwako erya ‘Butcher of Mariupol’, Gen. Konstantin Alexandrovich Pikalov gwe baakazaako erya ‘Mazaï’ ne Genero Andrey Troshev, eyakazibwako erya ‘Sedoy’.
Bonsatule bamanyiddwa mu Wagner ng’abasajja abakambwe n’okusinga engo eriko omwana, balina emitima egyaguba egijjudde ekko, tebasaaga era tebasonyiwa ne bwe kabeera kawuka akayita ku ngatto ye akalinnya omugere n’akaseeteeza ku ttaka. Tebaddwaamu, bapookino balamba era tebasekangako obulamu bwabwe!
Bano be bagenda okuluka pulaani, aba Wagner gye bakoze okutta oyo yenna eyawuliddeko, eyategeddeko, n’eyabadde mu lukwe lw’okutta Prigozhin. K’abe Putin aba Wagner gwe baalangiridde edda nga ‘aduuyi’ nnamba 1 era baagala mutwe gwe.
Emikutu gya yintaneeti egyenjawulo giraze ebikwata ku bagenero abasatu:
l. MIKHAIL MIZINTSEV (GWE BAAKAZAAKO ERYA MUSEETEEZA BIBUGA):
Genero Mikhail Mizintsev, omusajja Putin gwe yagoba olw’okuba omukambwe ekiyitiridde n’okukozesa ennwaana etataliza alina emmundu etamanyi muto na mukulu wadde okutaliza abakadde bakinvinvi.
Ono ab’omu kibuga eky’omwalo gw’e Ukraine ogwa Mariupol na kati bakyamwasimula bugolo bwe yaduumira olulumba olwakikuba n’akireka ku ttaka, Abangereza kwe baava okumutuuma ‘Butcher of Mariupol’. Mizintsev, yakola ebyafaayo bwe yayitibwa eyali mukama we Putin okuyambako ku nsiitaano eyali e Mariupol ng’olutalo lwakatandika, amagye ga Ukraine gye gaali geekobaanye n’abantu ba bulijjo okukuba n’okusannyalaza abajaasi ba Russia ne bagiremesa okukiwamba. Kyokka Mizintsev olwatuuka e Mariupol yayisa ekiragiro omwali okulabula eri abooludda lwa Ukraine bwe yagamba nt: “Musse wansi emmundu zammwe, nga buli anaakikola waakusonyiyibwa akkirizibwe okufuluma ekibuga, ataakisobole, entaana yo basime.”
Waayita essaawa mbale Mizintsev n’alumba eddwaaniro n’obukodyo obukambwe okukkakkana Russia esse bannansi ba Ukraine omwali bannaalumanya ne ssaalumanya, abaana, abakazi ab’embuto, ekibuga kyonna ne kisesebbuka ne kifuuka matongo.
Kino mu kusooka kyasanyusa Putin era mu September 2022 n’amulonda okubeera minisita omubeezi oweebyokwerinda ng’amyuka Sergei Shoigu.
Kyokka bwino bwe yayongera okuvaayo ku Mizintsev bye yakola e Mariupol omwali okukuba eddwaaliro abakyala mwe bazaalira ekyavaako babbebi ne bamaama okufa, n’okutugumbula abantu abasukka mu 15,000, n’asalawo okumufuumuula. Ono olwaba okumugoba, abadde omutandisi wa Wagner, Prigozhin n’amukansa nga y’omu ku lukiiko olufuzi olwa Wagner.
E SYRIA BAMUKAABA
Muntunsolo ono ayogerwako nti alina omutima gw’enjaba, nga tannasanjaga b’e Mariupol, yasooka Syria, wakati wa 2024-2016, Putin gye yamusindika okutaasa munywanyi we, Bashar al-Assad.
Mizintsev bwe yatuuka eyo yakola ekintu kye kimu n’aduumira basajja be abaanyugunya bbomu ezaatirimbula abayeekera na bonna abaali mu kitundu ky’e Aleppo nga na kati abaayo bwe bawulira ku linnya lye badduka kiwalazima. Abalwanirira eddembe ly’obuntu baakola okunoonyereza ne bazuula nti olulwana lw’e Aleppo, Genero Mizintsev, yattiramu abantu abasoba mu 23,000 ekyafaayo ekinyumizibwa n’omuto. Mizintsev mu ndabika ayogerwako ng’omusajja atamwenya, alina amaaso n’enviiri ebyeru nga ebya nnamagoye nga abagoberera eby’entalo baatandise dda okumusongako ng’omusika wa Prighozin.
2. KONSTANTIN PIKALOV
Konstantin Alexandrovich Pikalov, gwe baakazaako erya “Mazaï”, y’omu ku bikonge bya Wagner ebyasigaddewo. Ye muduumizi omukulu ow’ebikwekweto by’ekibinja kino mu Africa.
Ono okusinga amakanda yagasimba mu Central African Republic (CAR) n’e Mali ng’etonokeze y’okwawukana ne Putin yava ku kunoonyereza okwakolebwa ne kizuulibwa nti yatta bannamawulire ba Putin basatu mu July, 2018 era olwamunenyaako n’anyiiga ne yeegatta ku Wagner.
Ayogerwako ng’ensolo ya Jaguar erumba n’ezinduukiriza ky’eyagala okukwata awatali kukiwa mwagaanya gwa kutoloka nga abaali batigomya Gavumenti mu CAR n’e Mali bamwasimula bugolo, nga n’abamu eby’okuwamba Gavumenti baabyesonyiwa dda olw’obukodyo obukambwe bw’abattisa.
3. COL. ANDREI TROSHEV
Colonel Andrey Troshev, eyakazibwako erya ‘Sedoi’, munnamagye wa Russia eyawummula era omu ku batandisi b’ekibinja kya Wagner Group, ng’azze ateekebwako envumbo amawanga ga Bulaaya nga Bufalansa n’omukago gwa Bulaaya ogwa European Union olw’ebikolobero eby’obukamwe by’azze aduumira.
Ono avunaanibwa okusindika abalwanyi ba Wagner e Syria abazze batigomya abayeekera e Syria n’okuttanga abantu ba bulijjo abatalina musango, naddala mu kitundu kya Deir ez-Zor.Ono olw’okuduumira obulungi mu lutalo lw’e Afghanistan, Gavumenti yamutikkira amayinja og’omuwendo aga Red Star agaava edda mu biseera bya Soviet Union nga gaweebwa omuntu aba ayolesezza obukugu obw’enjawulo mu lutalo.
Kyokka waayita mbale n’ava mu magye ne yeegatta ku Prighozin okutandika ekibinja kya Wagner.