Yisirayiri esattira: Abalwanyi ba Wagner bakoze ddiiru n’aba Hezbollah

AMERIKA ne Yisirayiri ziri mu kusala ntotto ku ngeri ey’okweng’anga abakambwe aba Hezbollah ab’omu Lebanon oluvannyuma lw’okukizuula nti balina ddiiru gye baakutudde n’abalwanyi b’ekibinja kya Wagner eky’omu Russia okubavujjirira ebyokulwanyisa ebyomutawaana babyeyambise mu lutalo ku Yisirayiri.

Emizinga ekika kya Pantisir-S1. Mu katono, Pavel Prighozin akulira Wagner kati
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Hezbollah #Lebanon #Wagner #Russia #Yisirayiri #NATO

AMERIKA ne Yisirayiri ziri mu kusala ntotto ku ngeri ey’okweng’anga abakambwe aba Hezbollah ab’omu Lebanon oluvannyuma lw’okukizuula nti balina ddiiru gye baakutudde n’abalwanyi b’ekibinja kya Wagner eky’omu Russia okubavujjirira ebyokulwanyisa ebyomutawaana babyeyambise mu lutalo ku Yisirayiri.

Ekibinja kya Wagner ekiyamba Russia mu lutalo lwa Ukraine kibadde kikulirwa omugenzi Yevgeny Viktorovich Prigozhin eyali munywanyi wa Pulezidenti wa Russia , Vladimir Putin, kyokka n’afa mu August 2023 mu kabenje k’ennyonnyi akagambibwa nti Putin yakalinamu omukono.

Bambega b’ekitongole kya CIA ekya Amerika ekiketta ebweru waayo bagamba nti baalumise olukwe lwa Wagner oluwedde okuluka nga bategese okuwaayo emmundu za Russia ekika kya SA-22 Advanced System ezikasuka mizayiro mutasubwa mu kukuba ennyonyi.

Erinnya SA- 22 emmundu eyo lyagituumibwa mukago gwa NATO ogukulemberwa Amerika kyokka Russia egikola egiyita Pantsir missile system okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia.

Yeenasula bwenasuzi singa eketta ennyonyi yonna ey’omulabe mu bw’engula gy’etakkiriziddwa. Ekozesa mizayiro okusinga ekika kya medium-range surface-to-air missile ezikuba okumpimpi kubanga n’ennyonyi ennywanyi ezisinga okwebongera mu bbanga tezitumbiira wala nnyo ng’ezikuba bbomu eza long range.

Amawulire ga Wall Street Journal ku Lwokuna gaategeezezza nti abakungu mu Amerika baatidde olw’okuba ng’ekyo kigenda kunafuya Yisirayiri mu lutalo lwayo ne Hezbollah abawagira Hamas era ng’okulemesa Yisirayiri okukuba obulungi Hamas, Hezbollah buli kadde esosonkereza Yisirayiri ekigireetera okugikuba ate amaanyi mu kifo ky’okugamalira ku Hamas.

Omwogezi w’ekitebe ky’eggye lya Amerika ekya Pentagon, Brig. Gen. Pat Ryder yategeezezza nti, bakyebuuza pulaani gye yava, emmundu ze bategeka okubawa n’akkaatiriza nti ebinaavaamu bigenda kutabula ekitundu kyonna ate ekyatabuka edda okuva Hamas lwe yatta abantu mu Yisirayiri. Nga October 7, Hamas yatta abantu 1400 mu Yisirayiri n’ewamba abalala 220 ekyavaako olutalo lw’erimu ne Hamas essaawa eno.

Ddiiru y’ebyokulwanyisa ebigenda okuweebwa Hezbollah bisuubirwa n’okutuuka mu ba Hamas olwo ekintu kitabukire Yisirayiri ebadde yeekaaliisa mu lutalo.

Obuzibu Hamas bw’erina y’engeri gy’eyinza okutuusibwako ebyokulwanyisa ebyo etali nnyangu kubanga yeetooloddwa Yisirayiri so nga Hezbollah kyangu kya kubifuna nga biyitira mu Lebanon gye bali ne bibatuukako ku nsalo yaayo ne Yisirayiri gye balwanira mu mambuka g’eggwanga eryo.