EMIKISA gya Uganda okuyisaamu abakubi b’eng’uumi mu mizannyo gya Olympics gyongedde okukeewa. Kivudde ku ttiimu y’eggwanga The Bombers okukeerewa okuyingira enkambi mu kwetegekera ez’okusunsulamu ezirina okuyindira mu kibuga Dakar mu Senegal.
Emizannyo gya Olympics gyakubeera mu kibuga Paris ekya Bufalansa omwaka ogujja. The Bombers esookera mu zisunsula ez’okuggyibwako akawuuwo wakati wa September 9 ne 15 kyokka we tutuukidde kati ng’abazannyi tebamanyi kiddako.
Muhangi
Kivudde ku kusika omuguwa wakati wa UBF (ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga) ne Uganda Olympics Committee (UOC) ssaako NCS akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga. Gye buvuddeko, UOC yafulumizza olukalala lw’abazannyi 9 nga 6 be bagenda okukiika mu mpaka ezisunsula. Yakomezzaawo (ku buwaze), Shadir Musa eyaliko kapiteeni wa The Bombers ne David Ssemujju bwe bakiika mu mizannyo egisembye e Japan mu 2021.
Kino UBF ekiwakanya ng’egamba nti Shadir ne Ssemujju baafuuka bakiwagi kuba emaze emyaka ebiri nga tebamanyi na bibakwatako. Abalala abali ku ttiimu kuliko; Ukasha Matovu, Joshua Tukamuhebwa, Shafiq Mawanda, Grace Nankinga, Isaac Zebra Ssenyange Jr, Jonathan Kyobe ne Yusuf Nkobeza.
MUHANGI ATIISATIISA;
Wiiki ewedde, pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi UBF yafulumizza ekiwandiiko ng’alaga bw’avudde mu by’okuteekateeka ttiimu olwa UOC ne NCS obutatuukiriza bye bakkaanyaako. Wano yalangiridde bw’atagenda kutambula na ttiimu e Senegal. Ku lukalala lwa ttiimu egenda, Muhangi abaddeko n’abakungu 10 nga ye maneja waayo.
MUHANGI BY’ATAKKAANYA NABYO;
Muhangi agamba nti NCS ebakandaalirizza okubawa ensimbi eziteekateeka ttiimu ate UOC okuzza Shadir ne Ssemujju kuba kubayisaamu maaso ate nga be balina obuyinza ku bazannyi b’ebikonde bonna. Agattako nti obukiiko bwombi bwalemeddwa okugoberera emitendera gye bakkaannyaako mu kulonda ttiimu.
“Sirabangako UOC ng’erondera FUFA abazannyi ba Cranes, tutudde nabo enfunda eziwera kyokka kyewuunyisa tuyingidde wiiki esembayo nga ttiimu teyingiranga nkambi,” Muhangi bw’agamba.
EBYA BOMBERS BYONGEDDE KUKALUBA
UBF ebadde ekyali mu kukaayana ne UOC ssaako NCS, ebintu ne byongera okukaluba. Mu kusunsulamu okusembyeyo, Afrika yatwala abakubi b’eng’uumi 45 wabula ku luno, yaweereddwa ebifo 18 byokka nga ku bano kuliko abasajja musanvu bokka.
Abanaawangula zaabu bokka be bagenda okukiika mu Olympics okwawukana mu kusunsulamu okubaddewo emabega we batwalidde abazannyi basatu mu buli buzito. Kitegeeza nti The Bombers bw’eneeba yaakutwala bakubi e Bufalansa, balina okuwangula zaabu e Senegal.
UOC KY’EGAMBA;
Pulezidenti wa UOC, Dr. Donald Rukare agamba nti, “Omulimu gwaffe omukulu kuteekateeka ttiimu n’okuweereza enkalala n’ebikwata ku bazannyi abagenda. Ebya ssente NCS y’ebivunaanyizibwako.”