Mulungi awumizza Kimuli abatendesi be ne bakasuka tawulo mu ‘”lingi.”

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League yazzeemu okutojjera

Mulungi awumizza Kimuli abatendesi be ne bakasuka tawulo mu ‘”lingi.”
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Bikonde #Liigi

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League yazzeemu okutojjera ku wiikendi mw’ecamulidde abawagizi olw’ennwana ezibaddeko ne vvaawo mpiteewo ezizannyiddwa.

Yabumbujjidde ku kkiraabu Obligato mu Kampala ng’awamu ennwana 13 ze zaazannyiddwa.

Richard Kasujja (ku Kkono ) Ng'attunka Ne Depark Mawanda Ku Ddyo Mu Liigi.

Richard Kasujja (ku Kkono ) Ng'attunka Ne Depark Mawanda Ku Ddyo Mu Liigi.

Mu lulwana lw’olunaku Kassim Mulungi omu ku baggunzi b’enguumi kata attire Henry Kimuli mu miguwa.

Mulungi yapakidde Kimuli enguumi ezaawalirizza abatendesi be (Kimuli) okukasuka tawulo mu liigi nga balaba omuzannyi waabwe bamuttira mu miguwa. Battunkidde mu buzito bwa Feather kkiro 57.

Mulungi era ye yawangula ekirabo ky’omuggunzi w’eng’uumi eyasinga banne mu mpaka za National Open Boxing Championship ezaali e Lugogo mu March w’omwaka guno.

 

Mu nnwana endala Richard Kasujja yamezze Depark Mawanda mu buzito bwa ‘Middle’ ku bubonero 3-2, Emily Nakalema n’akuba Omujaasi Erina Namutebi ku bubonero 3-2 mu buzito bwa ‘Welter’, Ibrahim Kemis yawumizza Spear Muluya ku bubonero 3-2 mu buzito bwa Feather n’endala.

Moses Muhangi pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF) y’omu ku baabaddewo.