Ssemuddu awera kulwanira nnamba mu ttimu y'eggwanga ey'ebikonde

OMUGGUNZI w’enguumi Muzamir Ssemuddu yeeweze omwaka guno bwe yazze okukuba buli kiramu kimuyamba okufuna ennamba ku ttiimu y’eggwanga egenda okwetaba mu mpaka ez'enjawulo.

Ssemuddu
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

OMUGGUNZI w’enguumi Muzamir Ssemuddu yeeweze omwaka guno bwe yazze okukuba buli kiramu kimuyamba okufuna ennamba ku ttiimu y’eggwanga egenda okwetaba mu mpaka ez'enjawulo.

Ssemuddu ng’ono kanyama w’omuyimbi John Blaq bino yabyogedde yaakawangula olulwana lwe olwasoose mu liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga UBF Boxing Champions.

Yakubye Depark Mawanda enguumi tonziriranga mu lawundi ey’okubiri mu nwana ezabumbugidde e Bwaise mu wiikendi.

Wano we yasinziridde okulabula banne bwe bavuganya ku nnamba ku ttiimu y’eggwanga mu buzito bwa ‘Light Middle’ kiro 73.

Yategeezezza nti omwaka guno aluubiririra kukiikirira Uganda mu mpaka ezenjawulo n'alaalika bw'agenda okuwumiza bonna bwe bavugannya ku nnamba.

Mu buzito buno avuganya ne Isaac Zebra Ssenyange Jr. kwossa Brolline Bruce Kimbugwe.