Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ yandisubwa omukisa okwetaba mu mpaka za Africa Boxing Championship ez’omwaka guno.
Empaka zino zaakuyindira mu kibuga Yaonde ekya Cameroon wakati wa June 13 ne 25 omwaka guno.
Ekya poliisi okukwata Moses Muhangi pulezidenti wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga ku bigambibwa nti yajingirira empapula mu mbalirira ya ssente ezmuweebwa kirese The Bomber’s ku ssaala n’okubuusibwabuusibwa oba eneetaba mu mpaka zino.
Ebintu byeyongedde okusajjuka NCS akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga bwe kategeeza nti ssi kaakuwa abeebikonde nsimbi ndala ng’emisango Muhangi gyawerenemba nagyo teginaava mu ddiiro.
Muhangi asubiirwa okukomezebwawo mu kkooti nga May 31 omwaka guno ateekemu okusaba kwe okweyimirirwa kkooti emuyimbule ku kakalu kyokka nsalessale wa ttiimu ezirina okwewandiisi okuvuganya mu mpaka zino wa nga June 1.
Kino kyongedde okuleetawo okubuusabuusa oba The Bombers eneewandiisa.
The Bombers yawangudde emidaali ebiri egy’ekikomo mu mpaka za Africa Boxing Championship egy’omwaka oguwedde ezaabadde mu kibuga Maputo ekya Mozambique.
Jonathan Kyobe ne Yusufu Nkobeza be baagiwangudde.