Nakivubo agenda kuba wa nkizo mu mpaka z'ebikonde bya Africa(Africa Boxing Championship)

EKIBIINA ekitwala ebikonde mu Uganda (UBF) kiwaddeyo ekisaawe ky'e Nakivubo mu "Confederation Of Africa Boxing Association (AFBC) abatwala ebikonde mu Afrika nga ekifo omunaayindira empaka za Africa Boxing Championship.  

Akulira ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga Moses Muhangi ng'ali n'omugagga Ham e Nakivubo
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

EKIBIINA ekitwala ebikonde mu Uganda (UBF) kiwaddeyo ekisaawe ky'e Nakivubo mu "Confederation Of Africa Boxing Association (AFBC) abatwala ebikonde mu Afrika nga ekifo omunaayindira empaka za Africa Boxing Championship.

Ham ne Muhangi

Ham ne Muhangi


Pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi ye yategeezezza bino ng'aggulawo jjiimu ku kisaawe ky'e Nakivubo (Ham Fitness And Boxing Gym). Yagambye nti baasaba okutegeka empaka zino era obudde bwonna basuubira ABF (ekya Afrika) okubaddamu kuba ekisaawe ekiri ku mutindo gw'ensi yonna baakibawadde.
Yagasseeko nti bulijjo bali mu kaweefube wa kumatiza Ham era nti bakkaanyizza.

Ham ne Muhangi e Nakivubo

Ham ne Muhangi e Nakivubo

“Nneebaza Ham okutuzimbira ekisaawe amakula. Ffe nga abeebikonde tugenda kukigganyulwamu nnyo olwa jjiimu ebbiri ezikiteereddwaako,” bwe yakkaatirizza
Ham yategeezezza nti mwetegefu okukolagana n'abeebikonde n'abalala kubanga ekisaawe yakizimbidde Bannayuganda. "Ebikonde tobyawula ku Nakivubo kuba ebbanga lyonna bibadde bitegekebwa wano. Tuli beetegekfu okukwatagana na buli muntu," Ham bwe yategeezezza.
Uganda yasemba okutegeka empaka za Africa Boxing Championships mu 1983.