Beepise ebikonde mu liigi ya UBF Boxing Champions League

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League sizoni ey’okubiri yazzeemu okutogyera n’enwana ezenjawulo ezaabaddeko ne vaawompiteewo.

James Baraka ku ddyo ng'awumizza Emmanuel Tabule ku kkono.Ekif-FRED KISEKKA
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League sizoni ey’okubiri yazeemu okutogyera n’enwana ezenjawulo ezaabaddeko ne vaawompiteewo.

Mu lulwana lw’olunaku Lawrence Kayiwa owa Kira Boxing Club yawumizza Sadat Kilwana owa Lukanga Boxing Club gwe yelese ng’asaba buseera.

Ababiri battunkidde mu buzito bwa Light heavy Kayiwa naluwanguylira ku bubonero 4-1.

Enwana zino zabumbugidde mu MTN Arena e Lugogo nga zetabiddwaako Moses Muhangi Pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF).

Guno gwe mulundi Muhangi gwe yasoose okulabiikako ku liigi bukya asindikibwa mu kkomera e Luzira ku bigambibwa nti ku yagingirira empapula ng’akola embalirira ya sente Gavumenti zeewa emizannyo.

Mu nwana endala, Elpazi Mbaziira yakubye Derrick Mubiru tonziriranga mu lawundi eya 4. Battunkidde mu buzito bwa ‘Feather’ kiro 57.

Jaffar Onen yakubye Julius Kaddu ku bugoba 5-0, James Baraka nakuba Emmanuel Tabule mu buzito bwa Heavy, Phiona Kansiime yakubye Joyce Kugonza tonziriranga mu lawundi ey’okubiri kwossa ennwaana endala.