Bannayuganda bali ku final mu mpaka z'okuwuga mu Algeria

TTIIMU ya uganda ey'omuzannyo gw'okuwuga yeesozze empaka ezaakamalirizo mu mitendera ebiri okuli ogwa 50m Butterfl ne 100m Backstroke. 

L-R: Rahmah Nakasule Kalungi(with headphones): Coach Marvin Sselwanga. Abigail Mwagale
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

TTIIMU ya uganda ey'omuzannyo gw'okuwuga yeesozze empaka ezaakamalirizo mu mitendera ebiri okuli ogwa 50m Butterfl ne 100m Backstroke. 

Rahmah Kalungi yeyasoose okuyitawo oluvannyuma lw'okumalira mu kifo eky'omukaaga mu mutendera gwa 50m Butterfly nga ono yawugiddewo sikonda 30:41.
kapiteeni wa ttiimu ya uganda ey'abawala Paula Nabukenya ye teyasobodde kuyitawo mu mutendera guno oluvannyuma lwokumalira mu kifo kya 9.
 
Oluvannyuma Abigail Mwagale naye yeesozze oluzannya olw'akamalirizo oluvannyuma lw'okuwugira eddakikka 1:30 namalira mu kifo ekyomusanvu.
 
Paula Nabukenya akomawo mu nsiike olwaleero mu mutendera gwa 50m Backstroke ne 100m Freestyle ate nga ye Rahma kalungi agenda kuttunka nabawala okuva mu mawanga amalala mu mutendera gwa 50m Backstroke.
 
Bannayuganda abalala abali mu nsiike olwaleero ye Abigail Mwagale mu mutendeea gwa 100m free style, Elijah Wamala mu mutendera gwa 50m Backstroke ne Tumusiime Kodet agenda okuwugira mu mutendera gwa 50m Backstroke.
 
Mu muzannyo gwensero owa 3x3 yayisewo okwesogga oluzannya oluddirira olwakamalirizo oluvannyuma lwokuwangula emizannyo gyayo ebiri. Uganda yakubye abategesi aba Algeria 19-7 neddamu nekuba aba Nigeria 16-13 kyokka Rwanda nebava emabega nebakuba 18-16. Wabula omutendesi wa Lovi Najuuko teyabadde musanyufu olwabazanyi bw okubazanyisa omuzannyo gwabwe ne Rwanda nga tebawumudemu yadde baabadde baakava mu kisaawe.
 
Ye munnayuganda Imran Luwooza owomuzannyo gwa Table Tennis yakomye ku munaabo oluvannyuma lwa munna Ghana michael Mensah okumuwandulamu ku luzannya olwa Quarter finals. Luwooza eyayiseewo nga takubiddwamu ebintu byamutabuseeko nebamukuba obugoba 4-3 yadde nga yeyaaoose okukulembera.