Uganda cranes ekubye Senegal omutendesi Byekwaso n'awa essuubi mu za CHAN

MORLEY Byekwaso, omu ku batendesi ba Cranes, awadde Bannayuganda essuubi nti ttiimu yaabwe egenda kukola bulungi mu mpaka za CHAN ezibindabinda. Empaka za CHAN zeetabwamu abazannyi bokka abali mu liigi ya waka.

Uganda cranes ekubye Senegal omutendesi Byekwaso n'awa essuubi mu za CHAN
By Hussein Bukenya
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Uganda cranes #Mutendesi #CECAFA #Muzannyo

MORLEY Byekwaso, omu ku batendesi ba Cranes, awadde Bannayuganda essuubi nti ttiimu yaabwe egenda kukola bulungi mu mpaka za CHAN ezibindabinda. Empaka za CHAN zeetabwamu abazannyi bokka abali mu liigi ya waka.

Kiddiridde okuwangula Senegal (2-1) mu nsiike eyabadde mu kibuga Arusha ekya Tanzania ku Lwokuna. Baabadde battunka mu kikopo kya CECAEA 3 Nations Pre- CHAN Tournament.

 

Byekwaso agamba nti wadde baakubwa Tanzania mu gwasooka, ogwa Senegal gwabawadde ekifaananyi ekirungi nti ttiimu esobola okukola obulungi singa bongera okutereeza ensobi ezikyalimu.

 Cranes bwe yabadde tennazannya Senegal, yasoose kuttunka ne bannyinimu aba Tanzania n’ekubwa (1-0). Ttiimu eyakubwa Tanzania, baagikyusiza ku Senegal.

“Twazannye bulungi era twafunye ekifaananyi kya ttiimu ekituufu kuba buli muzannyi yafunye omukisa okuzannya naffe era abatendesi twalabye ebyetaaga okutereeza. 

Empaka zino tuziyigiddemu ebintu bingi okuli n’okulaba abazannyi engeri gye bakwataganamu nga tetunnatuuka mu CHAN,” Byekwaso bwe yategeezezza. Cranes yakomyeywo ku Lwomukaaga n’eddayo mu nkambi.

Empaka zino zibulako ennaku 6 okutandika nga zaakutegekebwa amawanga 3 okuli, Uganda, Tanzania ne Kenya. Zitandika August 2 okutuusa nga 30 mu mwezi gwe gumu. 

Tanzania y’egenda okutegeka omupiira oguggulawo ng’ettunka ne Burkina Faso nga Agusut 2 ate Uganda yaakuyingira ensiike nga August 4 ng’ettunka ne Algeria e Namboole.

Cranes eri mu kibinja C ne Niger, Guinea, Algeria ne South Africa nga batwalako ttiimu 2 okugenda ku quarter.