ENG’UUMI yasese entuuuyo ne zikamuka abakubi wakati mu bunkenke bw’abawagizi abaakulembeddwa akulira ofiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga, Hajjat Hadijah Namyalo.
Bamusaayimuto mu bikonde buli omu yabadde alwana kulaga ky’alinawo mu buzito obw’enjawulo. Ttiimu ezimanyiddwa mu bikonde by’eggwanga okuli; Lukanga, Zebra, UPDF, KCCA, Kololo High, Kiwaatule, Kalinabiri n’endala.
Ennwaana 25 ze zaabaddewo. Baabadde mu ‘Uganda Boxing Champions League sizoni eyookuna ku MTN Arena e Lugogo ku Lwomukaaga nga fayinolo yaakubeerawo nga December 26, 2025.
Mu zimu ku nnwaana ezaacamudde abalabi, kwabaddeko olwa Alex Kanaabi owa KCCA Boxing Club ne Nerrick Tumusiime ‘Nerrick Bulabe’ owa Kololo High School.
Olulwana lwagenze okuggwa nga Kanaabi awangudde ku bunonero 5:0 n’asitukira mu doola 600 (2,160,000/-) ate Bulabe n’awangula 1,500,000/- . Namyalo yeeyama okusasulira Bulabe fiizi za ttaamu eyookusatu n’ebyetaago byonna. N’abakubi abalala abaawangudde buli omu yafunye 1,000,000/-.
Ennwaana zino zajjumbiddwa abanene okuli ne pulezidenti w’ekibiina ekifuga ebikonde Moses Muhangi, omumyuka we Sula Kamoga, RCC wa Kampala Central, Shafic Nsubuga, omuyimbi Nina Roz n’abalala bangi.
Muhangi yasiimye Pulezidenti Museveni okwagala ennyo abeebikonde n’okubasindikiranga Namyalo abayamba ku kulaba ng’enzannya zino zibeerawo.