ABAWAGIZI b'omupiira bakungubagidde Joey Jones, eyali omuzibizi wa Wales, Liverpool ne Wrexham eyafiiridde ku myaka 70.
Jones, yamala emyaka 3 mu Liverpool n'agiwangulira liigi eyasooka, ebya Bulaaya (2), UEFA Cup ne European Super Cup.
Mu 1977 nga Liverpool ekuba Gladbach e Rome, Jones yafuuka enzaalwa ya Wales eyasooka okuwangula European Cup.