OBULAMU mu Barcelona, Omungereza Marcus Rashford abutandise na wiini. Eggulo, yayingiziddwaamu mu ddakiika ya 46 nga bakuba Vissel Kobe eya Japan (3-1) mu gw'omukwano nga beetegekera sizoni ejja.
Yazze mu kifo kya Raphinha wabula ng'omupiira gutuuse mu ddakiika y'e 78, yaggyiddwaayo ne bayingiza Pedro Fernandez.
Ku Barcelona, Rashford yagenzeeyo ku looni okuva mu ManU wabula ng'alina
omukisa ogusigalirayo ddala singa anaabakakasa 'eddiba'.
Sizoni ewedde yagimalako ali mu Aston Villa era ku looni. Barcelona eyawangula La Liga sizoni ewedde, ejja yaakugiggulawo na kukyalira Mallorca nga August 16.