Bya Ssuuna Peter
AB’EKIKA ky’ Engabi abagambibwa okutuuza omutaka Nsamba mu bukyamu bakyattunka mu kkooti ya Kisekwa e Mengo, ekiwandiiko ekyabagibwa ne kitwalibwa ewa Minisita w’obuwanga n’ennono ekiraga nti Ssaabalangira Muyomba tannakakasibwa mu kifo ekyo ate n’asumika Ssaalongo Magandaazi ku bwa Nsamba kibizadde abaakibaga bayitiddwa okubitebya.
Bawaandika alipoota ne bagiwa minisita David Walusimbi eyaliwo mu biseera ebyo ne bateekamu ennyingo nti Robert Muyomba si y’ow’essiga Ssaabalangira Muyomba ateekeddwa okusumika omutaka Nsamba.
Obujulizi obwaleeteddwa oludda oluwaabi bwalaze nti ekiwandiiko kino kyabagibwa mu mwezi gwa May 7, 2017 ate ne batuuza Ssaalongo Magandaazi mu September 14, 2017 nga n’eyakola emikolo gy’okutuuza Nsamba, Muyomba yali tannakakasibwa mu kifo ekyo ate nga n’ekisinga okwewunyisa yali yagendako mu mwaka 2013.
Abamu ku baateeka emikono ku kiwandiiko ekitakakasa Muyomba ku bwa Ssaabalangira kwaliko Ssaalongo Magandaazi (omutaka Nsamba) aliko kati kwossa ne Katikkiro Mulyanga ate nga be bawawabirwa abeenyigira mu kukola emikolo gino mu bukyamu.
Kigambibwa nti Nsamba Joseph Kamoga (omugenzi) yakola nsobi okuteeka Muyonga ku bwa Ssaabalangira bw’e ssiga kubanga ekyo kikolebwa baamituba ba Nsamba era ne bateekako n’emikono nti ono tannakakasibwa ate lwaki ye yakola emikolo egisumika Magandaazi.
Joseph Nsamba Kamoga eyali omutaka w’ekika ky’e Ngambi ye yalonda Robert Muyomba ssaako n’okulonda Ssaalongo Magandaazi mutabani we ate ng’akimanyi bulungi nti Ssaalongo tasika okusinziira ku nnono y’ekika ky’e Ngabi.
Nsa 4
Abavunaanibwa mu kkooti eno kuliko omutaka Nsamba yennyini Ssaalongo Aloysius Magandaazi, Robert Muyomba agambibwa okusumika omutaka ssaako ne Constantino Mulyanga katikkiro w’ekika.
Ab’emituba okuva mu ssiga lya Muyomba mu kika ky’engabi balumiriza Omutaka Ssaalongo Aloysius Magandaazi okwewangamya ku bwa Nsamba kye bagamba nti kimenya ennono n’obuwangwa bw’a Baganda.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Haruna Lubega Mbazzi lwakunyizza abawawabirwa ne bakubagana empawa ku kiwandiiko kino ekyaleese obuzibu mu kkooti.
Oludda oluwaabi lwabuuzizza ensonga eyo eyabalemye okwanukula kkooti n’ewalirizibwa okuyita abalala abaateeka emikono ku kiwandiiko bannyonnyole lwaki kye baasalawo ate oluvannyuma ne bakola ebikontana n’obuwangwa.
Abaayitiddwa kuliko Jalamba Muwonge eyali omuwandiisi wa lipoota eyo, Samuel Matovu ow’essiga lya Nakakakulu eyali Ssentebe bajje balungamye kkooti kubanga abawawabirwa baalemereddwa okutegeeza kkooti lwaki baasalawo bwe batyo.
Abalamuzi ba kkooti ya kisekwa baakulembeddwamu Lubega Ssebende, Wilson Ssentoogo, samwili Walusimbi, be baayise abaateeka emikono ku kiwandiiko balungamye kkooti kubanga abawawabirwa baalemereddwa okutegeeza kkooti lwaki baasalawo bwe batyo ate oluvannyuma ne batuuza omutaka Nsamba. Omusango guno bagwongeddeyo okutuusa nga September 7, 2022 guddemu.