Abavubi batimpudde ttiimu y'oku lukalu ne bagitwalako ekikopo e Nabyewanga - Nkozi

TTIIMU y'abavubi b'omu mwalo gw'e Ggolo eta Ggolo A ezzeemu okweddiza ekikopo n'endaawo y'ente gattako akakadde ka ssente ebyawakaniddwa mu mpaka z'olusooka Omwaka eza Kaweesi Cup.

Abavubi batimpudde ttiimu y'oku lukalu ne bagitwalako ekikopo e Nabyewanga - Nkozi
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision

TTIIMU y'abavubi b'omu mwalo gw'e Ggolo eta Ggolo A ezzeemu okweddiza ekikopo n'endaawo y'ente gattako akakadde ka ssente ebyawakaniddwa mu mpaka z'olusooka Omwaka eza Kaweesi Cup.

Empaka zino zassibwawo Munnabyamizannyo Sulaiman Kaweesi ng'ezakamalirizo zayindidde mu kisaawe ky'e Nabyewanga e Nkozi mu Mpigi.

Ggolo A batunse ne Bukunge A nga zawakaniddwa ku mutendera gw'emiruka omunaana egikola ggombolola y'e Nkozi.

Abasambi Ba Bukunge A  Fc Mu Kiragala Nga Bubeefuka N'aba Ggolo Fc Mu Mpaka Za Kaweesi Cup Mu Kisaawe E Nabyewanga E Nkozi Mu Mpigi Ku lusooka omwaka

Abasambi Ba Bukunge A Fc Mu Kiragala Nga Bubeefuka N'aba Ggolo Fc Mu Mpaka Za Kaweesi Cup Mu Kisaawe E Nabyewanga E Nkozi Mu Mpigi Ku lusooka omwaka

Ggoolo bbiri ezatuusiza Ggolo A ku buwanguzi zabateebeddwa Charles Bbaale nga baalamuddwa ddiifiri Fred Ashaba.

Yo Bukunge B FC yakute kya kusatu ng'ewangudde Kankobe FC ku ggoolo 5ku 3.

Ate mu gw'okubaka, ekikopo n'ente n'emitwalo 50 by'awanguddwa abakyala ba Kiguli NTC abaawangudde abakyala ba Ggolo NTC ku bugoba 14 ku 11.

Abategesi abakuliddwa Muhamood Ssembuuza balaze ebisomoozo bye bafunidde mu mpaka zino naddala ebisaawe ng'ekye Nabyewanga ekirina omuddo omutono.

Bagasseeko ggoolo z'ebyuma n'obutimba bwakwo ogatteko ggoolo z'abawala ezitambuzibwa nti tebazirina.

Sulaiman Kaweesi Ne Susa Nnakawuki Nga Bambuuza Ku Bazannyi Ba bukunge a fc

Sulaiman Kaweesi Ne Susa Nnakawuki Nga Bambuuza Ku Bazannyi Ba bukunge a fc

Wano Kaweesi n'agattako nti betaaga obukadde kkumi ezaasabwa nnannyini ttaka okuwa abazannyi b'e Nabyewanga ekyapa ku kisaawe kino.

Kaweesi yawaddeyo ente nnya ezaweereddwa ttimu ennya mu basajja n'abawala abatuuse ku kamalirizo.

Bano yabagatiddeko emiddaali,emipiira n'emijoozi nga ne ttiimu zonna ezeetaba mu kikopo nazo yaziwadde emijoozi.

Wabula yannenyezza abazannyi abatakozesa mijoozi gy'abawa ne bazannyira mu ngoye zaabulijjo.

Omugenyi omukulu Shafiq Mwanje yabasuubizza akakadde ku kisaawe ne Minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja gwe y'akiimiridde n'asuubiza akakadde kamu n'ekitundu.

Ate eyali omubaka wa Uganda mu lukiiko lwa East Africa, Susan Nakawuki Nsambu y'asuubizza okugulira ebisaawe ggoolo n'obutimba ng'akwatizaako Kaweesi mu kutumbula ebyemizannyo ebibagattira awamu.