Isak atadde ku Newcastle akazito

OMUTEEBI Alexander Isak, atadde bakama be aba Newcastle mu kattu bw'abasabye pawundi 300,000 buli wiiki okukkirizza endagaano empya.

Isak atadde ku Newcastle akazito
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Isak Alexandria #New castle #Byamizannyo

OMUTEEBI Alexander Isak, atadde bakama be aba Newcastle mu kattu bw'abasabye pawundi 300,000 buli wiiki okukkirizza endagaano empya.

Newcastle eyagala kusigaza muteebi ono eyakuba ggoolo 23 sizoni ewedde wadde nga Liverpool yamutaddeko obukadde bwa pawundi 130.

Okusinziira ku gava mu Newcastle, wadde teyagala kutunda, omuzannyi ayagala okwegatta ku Liverpool. Newcastle yamalira mu kyakutaano n'ekiika mu Champions League.