Lipooti eyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna ekya The United Nations Office on Drug and Crime (UNODC) eraga nti ebitundu by’omubiri ebiwera 118,127 bye byasimbulizibwa okuli; ensigo, ekibumba, omutima, amawuggwe, amawuggwe n’ebirala.
Judith Nakintu baamuggyiramu ensingo ku kyeyo.
Okusimbuliza ensigo kwe kwasinga okuba okungi nga kwakolebwa ku bantu 79,000 ate ekibumba baali 25,000. Ssente eziwera doola za America obukadde 600 ze zaasasanyizibwa mu bumenyi bw’amateeka nga bagula ensigo.
Obumu ku bukodyo obumanyiddwa abagula ensigo bwe bakozesa kwe kutwala abantu mu mawanga g’ebweru okubafunira emirimu. Olw’okuba babeera ku mawanga kibanguyira okubakola bye baagala awatali ayamba.
Waliwo abamu be basuubiza ebintu eby’ebbeeyi ng’amayumba ge batalootangako. Kyokka ekibi bangi bikoma mu bigambo tebabituukiriza. Bwe bamala okufuna kye baagala tebajjukira yabajja mu buzibu.
Omusuubuzi wa Owino, Muhamood Kabanda, alumiriza eddwaaliro lya Old Kampala okumuggyamu emu ku nsigo ye.
Abakugu bagamba nti kirungi omuntu okwekebeza ebitundu by’omubiri byonna eby’omunda n’amanya we biyimiridde. Wano wasobola okumanyira oba ng’olina ensigo zombie okusinga okulinda ne bakakutema oleete obukakafu nti wazaalibwa n’ebbiri.
Abakugu era bagamba nti omuntu yenna agenda okulongoosebwa osaana okubeera n’abayambi ab’obuvunaanyizibwa. Balina okuba nga beetegereza buli ekikolebwa nga bafaayo okumanya ebigenda mu maaso.
Ebiri mu tteeka eryayisibwa Palamenti ku kuggyamu ebitundu by'omubiri
Etteeka eryayisibwa Palamenti mu September w’omwaka guno erikwata ku kusimbuliza, okugaba n’okutereka ebitundu by’omubiri okuva mu muntu omu okudda mu mulala lyassaawo ebibonerezo ebikambwe.
Etteeka lya The Uganda Human Organ Donation and Transplant Bill 2022 eririndiridde Pulezidenti okussaako omukono lyateekebwamu ebibonerezo ebikakali ebigenda okubonereza abantu ebeenyigira mu kusimbuliza n’okutunda ebitundu by’abantu eby’omunda mu bumenyi bw’amateeka.
Ssinga eddwaliro lyonna oba ekitongole ekitalina layisinsi kyenyigira mu kusimbuliza ebitundu by’omuntu eby’omunda, kyakutanzibwa obuwumbi mu ssente za Uganda 10.