AC PUMP’ kyuma ekisangibwa mu mmotoka nga kino kiyambako okuweereza obuweweevu (A.C) obuyambako okukkakkanya ebbugumu mu mmotoka ng’etambula.
Yasin Lusiba, makanika ku Agaati Garage e Luzira agamba nti, buli mmotoka esaana okuba ne AC pump ennamu obulungi okugisobozesa okukola emirimu gyayo.
AC Pump bw'efaanana.
ENKUUMA YA AC PUMP
‘AC pump’ terina bbanga ggere ly’ekola era okufa kwayo kutera kusinziira ku nkozesa yaayo n’ekika kyayo nga singa ebeera ya kicupuli ebeera efa mangu.
Kyokka makanika alina okubeera omwegendereza ng’ayunga waya ezibeera ku AC pump kubanga singa omuliro guyungibwa bubi kivaako okufa.
Eno ebeerako oluseke olutwala AC ku firiigi ne ku ‘Radiator’ era olina okukakasa nga enseke ezigiriko teziriiko katuli konna kubanga singa kabeerako kitegeeza nti, AC yonna egenda kufuumuuka.