Obubonero kw'olabira AC erina obuzibu

AC PUMP’ kyuma ekisangibwa mu mmotoka nga kino kiyambako okuweereza obuweweevu (A.C) obuyambako okukkakkanya ebbugumu mu mmotoka ng’etambula.

Obubonero kw'olabira AC erina obuzibu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Emboozi #AC #Pump #Motomart #Agafa ku bidduka

AC PUMP’ kyuma ekisangibwa mu mmotoka nga kino kiyambako okuweereza obuweweevu (A.C) obuyambako okukkakkanya ebbugumu mu mmotoka ng’etambula.


Yasin Lusiba, makanika ku Agaati Garage e Luzira agamba nti, buli mmotoka esaana okuba ne AC pump ennamu obulungi okugisobozesa okukola emirimu gyayo.


Ssinga AC pump eno efa, yeeroopa era ogimanya mangu kubanga ebyuma biri ebigitambulirako bibeera tebikyakola bulungi, okugeza, bbeeringi gye yeetoololerako etandika okukola eddoboozi eritali lya bulijjo.

 

 Kano kabeera kabonero ng’eriko obuzibu newankubadde esobola okusigala ng’ekuwa obunnyogovu obutonotono.

 

AC pump bw’efa esobola okwesiba n’ebeera nga tekyasobola kutambuza byuma ne AC n’aviirako ddala.