Kozesa akaddo ka kayongo ogimuse omubiri

AKADDO ka kayongo abantu abasinga tebakafaako wabula kajjudde emigaso eri abasajja. Kano katera kwemeza kokka ku bisenge ne mu bifo ebirimu omuddo. 

Kozesa akaddo ka kayongo ogimuse omubiri
By Molly Nakazzi
Journalists @New Vision
#Mulwadde #ddagala #Jajja #Butonde #Kujjanjaba

AKADDO ka kayongo abantu abasinga tebakafaako wabula kajjudde emigaso eri abasajja. Kano katera kwemeza kokka ku bisenge ne mu bifo ebirimu omuddo. 

 

Omukugu mu kunoonyereza ku ddagala ly’ekinnansi, Dr. Twahah Kaweesa Senkolooto okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI) annyonnyodde nti, kayongo alimu ebirungo bingi omuli; Vitamiini C, K, potassium n’ebiwuziwuzi eby’omugaso eri omusajja. 1 Olw’akaloosa akalimu kayongo ayamba omusajja okucamuka obulungi n’atuukiriza emirimu gye.

 

2 Okulinnyisa ku muwendo gw’obusimu obuyamba omubiri gw’omusajja okubeera omugimu olw’ekirungo kya ‘zinc’ ekirimu. 3 Kayongo agoba yinfekisoni eziyinza okunafuya omubiri gw’omusajja okumulemesa emirimu gye.

 

4 Singa omusajja anywa omubisi oguva mu kayongo, omuwendo gw’enkwaso ennamu gubeera waggulu. 

 

5 Olw’omunnyo gwa calcium oguli mu kayongo, kiyamba okugumya amagumba g’omusajja ekimusobozesa okusaza ekimu mu kisenge.

 

6 Ayamba okuziyiza omubiri gw’omusajja okuzimbazimba olw’ekirungo ekikuuma omubiri nga guli mu mbeera nnungi.

 

7 Ayamba omusajja okufuna ezzadde singa amwettanira.