ABASUUBULA emmotoka okuva wabweru w’eggwanga batabuddwa lw’obukwakkulizo bwe babassaako obubaviiriddeko okufiirwa ssente.
Francis Kanakulya, nga musuubuzi wa mmotoka mu Kampala era nga yaliko omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga ekya Associated Motor Dealers (AMD) yagambye nti, ng’oggyeeko okuba nga mmotoka ezaakolebwa wakati w’emyaka 2010 ne 2011 okuba ng’omusolo gusasulibwa ku mwalo e Mombasa oba e Dar es Salaam mu Tanzania, waliwo ebintu ebirala ebibanyigiriza.
Agamba nti, mmotoka ezikkirizibwa okuterekebwa mu bbondi okuva ku mwaka 2012 okudda waggulu buli lunaku mmotoka ya buyonjo esasula okuva ku 5,000/- okutuuka ku 7,000/- kino kitegeeza nti, mmotoka bw’eweza omwezi mu bbondi osasula kinene.
Embeera eno evuddeko abasuubuzi okuzitunda ku mabanja olw’okutya okusasula ssente za bbondi ate ng’abamu ku baguzi si beesimbu.