Enkuuma y'ebyuma ebikola ku kunnyongoza emmotoka

‘AC PUMP’ kyuma ekisangibwa mu mmotoka nga kino kiyambako okuweereza obuweweevu (A.C) obuyambako okukkakkanya ebbugumu mu mmotoka ng’etambula.

Enkuuma y'ebyuma ebikola ku kunnyongoza emmotoka
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Byuma #Kukola #Nkuuma #Kunnyogoza #AC

‘AC PUMP’ kyuma ekisangibwa mu mmotoka nga kino kiyambako okuweereza obuweweevu (A.C) obuyambako okukkakkanya ebbugumu mu mmotoka ng’etambula.

 

Yasin Lusiba, makanika ku Agaati Garage e Luzira agamba nti, buli mmotoka esaana okuba ne AC pump ennamu obulungi okugisobozesa okukola emirimu gyayo.

 

EMIGASO GYA AC PUMP.
AC pump erina okukuumibwa nga eri mu mbeera nnungi okugisobozesa okukola obulungi omulimu gwayo.

 

Eno eyitako olukoba lwa ‘fun belt’ nga luno luyambako okuyunga sisitimu y’emmotoka okusobozesa ebyuma okukola obulungi. ‘Fun belt’ eno evuga ebyuma nga Alternator (ecaginga emmotoka), evuga Water pump (ekipika amazzi mu yingini), evuga ppule (evuga yingini ne AC pump) nga wano kisobozesa bino okukola obulungi.

 

Munda mu AC pump mubeeramu bbeeringi ng’eno eyambako okutambuza ebyuma ebibeera byetooloolera munda.

 

Buli lw’oteeka AC mu mmotoka kyokka nga pampu eno tekola bulungi kitegeeza nti, ne bw’okoleeza yingini ebeera tesobola kusindika bunnyogovu gye bulina kutuuka.

Kyokka waliwo abagoba b’emmotoka abamu abamanyi okuggyamu AC Pump mu mmotoka nga kino kibeera kikyamu kubanga kitegeeza nti, omugoba ne bw’abeera mu bbugumu litya emmotoka temuweereza bunnyogovu.