GYE buvuddeko omuvubuka omusituzi w’emigugu mu Kikuubo yagudde ekigwo n’afiirawo wadde nga yabadde teyeetisse mu kaseera ako. Abantu baasigadde beebuuza kwe kivudde, era okufa kwe baakuyise kwa kikutuko.
Abantu bangi bakola emirimu egirimu okusitula ebizito kw’ossa abakola dduyiro ow’okusitula obuzito nga tebasoose kwebuuza ku basawo ku buzito ki bwe basaanidde okukomako.
Dr. Henry Kaggwa, omusawo mu ddwaaliro e Mengo, agamba nti, obulabe n’endwadde ebiyinza okuva mu kusitula ebizitowa bisobola okubeera eby’embagirawo oba ne bijja nga wayise ebbanga, era annyonnyola bw’ati?
Ebinywa n’ennyingo bye bisinga okukosebwa, ne kuddako omugongo, ebibegabega, ensingo, enkokola, n’amaviivi.
lOmuntu asobola okufuna obulumi nga takyasobola kutambulaoba kukola emirimu gye bulunginga okweweta n’ebirala.
lAmagumba mu mugongogasobola okuseeseetuka obaokwenyiga nga kivudde ku kwetikka ebizito.
lAbalala basobola okubeeran’obulumi obw’amaanyi munsingo, mu bibegabega n’omugongo nga kivudde ku kwetikkaebizitowa okumala akabanga.
Ssinga omuntu eyeetisse ebintu ebizitowa agwa, emikisa gye egy’okumenyeka gibeera waggulu.
lAbalala batera okufunaobulwadde bwa aniya. Kunokuba kunafuwa kwa kisengekya lubuto, ebinywa ebikuumaolubuto bisobola okunafuwa mubifo eby’enjawulo ne biyulikaekivaako ekyenda okuwagaanyane kifuluma n’ofuna obulumiOlubuto lulina ebinywa nga mu mbalakaso, ku kkundi, ebyo bwe binafuwa ekyenda ne kyepika, nga kyagala okuyitamu kireeta obulumi era eddagala lyakyo kulongoosebwa.
lOmuntu ayinza okufunan’obulwadde bw’omutima ngatamanyi, wabula obubonero nebujja obw’amaanyi nga okuzirika, beebo b’owulira nti, yabaddeyeetisse n’azirika.
lKisobola okukosa obusimuolw’ensonga nti, ennyingo ziba tezikyasobola kubeera wamu oba nga zeekuuse. Noolwekyo, obusimu obutambuza amasannyalaze mu mubiri butaataaganyizibwa omuntu n’asannyalala.
EKISAANA OKUKOLEBWA
lDr. Kaggwa agamba nti,omuntu yandyetisse ekintu ky’awulira ng’asobola bulungi.
lAbagenda mu bifo gye basitulira obuzito kirungi ne babeeran’omukugu n’abalaga engeriy’okukozesaamu ebintu bino.
Engeri gy’ositulamu ebintu kikulu, bw’oba ositula si kirungi n’okutama, kyalibadde kirungi n’obanga asitama, amagumba agali mu bisambi ne gakuwanirira okusituka, naye abantu abasinga bw’aba asitula aweta omugongo n’asitula, ekitali kituufu.
lToddira mwana muto kumusituza bizitowa, kyandibaddekirungi omwana n’omutikkaobuzito bw’olaba obugya mumyaka gye.
Omwana omuto bw’aba aweeka ensawo nga mulimu ebitabo nga emumenya, ebibegabega biyinza okufuna obukosefu nga ennyingo n’ebinywa bikoseddwa.
TOSITULA BUZITO AWATALI MUKUGU
Robert Ssebuggwaawo (Coach Bob), omukugu mu kukuuma emibiri nga miramu ate nga akozesa n’ababaka dduyiro ku ku Palamenti, agamba nti, okuzimbya emibiri (Body straining) nga bayita mu kusitula obuzito kiyamba ebitundu by’omubiri nga ennyingo, ebinywa n’emisuwa okubeera nga bigumu.
Coach Bob agamba nti, kino kiyambako n’okukuuma omubiri nga gusobola okulwanyisa endwadde ezitali zimu.
lOkufuulaomubiri mungeri gy’oyagala(Body straining)si kya bulabeeri omubirigw’omuntu okuggyako ng’abaddeakozesa ebiragalalagala, ekiyinza okuvaakoobulabe.
Engeri y’okwerabirira ng’ositula ebizitowa
Okusitula obuzito kugendera ku mitendera nti, bw’oba oyagala kuzimba binywa osobola okutandikira ku kazito aka kkiro 10, n’odda ku 20, 30 okutuuka gye busembera, nga omukugu bw’aba akuluηηamiza. Kya bulabe omuntuokusitula obuzito nga talina mukugu era ateekeddwa okugoberera ebiragiro bye okwewala obuzibu obuyinza okuva mu kyo.
Okuyuza emisuwa oba okwabika:
Omuntu asitula obuzito obususse kyangu okwabika emisuwa ekivaako okukosa omubiri oluusi n’okufa.
Omutima okwabika : Omuntu ayinza okwabika
omutima bw’asitula obuzito
bwatateekeddwa kusitula.
Ebinywa bisobola owetugga bw’ositula ebizito nga tolina mukugu akubuulira
eky’okukola. Omuntu asitula obuzito ateekeddwa okuba nga mulamu bulungi.
ENDABIRIRA Y’ASITULA EBIZITOWA
Asitula obuzito ateekeddwa okwerabirira obulungi ng’ayita mu kulya emmere ey’omugaso nga enva endiirwa, ebibala, n’emmere endala yonna ekuuma omubiri omulamu.
Omuntu asitula obuzito ateekeddwa okwebaka
ekimala. Okunywa ennyo eby’okunywa ebitatamiiza, ng’omubisi omukamule mu bibala n’amazzi.
Okulya ebibala nga wootameroni, ennaanaasi, emiyembe n’ebirala.
Okwekebezanga okulaba obulamu we buyimiridde buli kaseera