Amawulire

Namirembe: Akakiiko akasunsula anadda mu kya Luwalira katudde

AKAKIIKO akaalondebwa okusunsula amannya g’abaagala ekifo ky’Omulabirizi w’e Namirembe katandise emirimu gyako n’okusomesa bammemba ku buvunaanyizibwa bwabwe.

Namirembe: Akakiiko akasunsula anadda mu kya Luwalira katudde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO akaalondebwa okusunsula amannya g’abaagala ekifo ky’Omulabirizi w’e Namirembe katandise emirimu gyako n’okusomesa bammemba ku buvunaanyizibwa bwabwe.

Ensonda okuva e Namirembe zaategeezezza Bukedde nti bammemba 15 abatuula ku kakiiko kano baabannyonnyodde ne ku bisaanyizo omuntu asaanidde ekifo ky’Omulabirizi by’alina okuba nabyo.

Leero (Lwakuna) akakiiko akakulirwa Cansala w’Obulabirizi Fredrick Mpanga kagenda kubeera n’olusirika nga basabira obuvunaanyizibwa obwabakwasiddwa ssaako okulonda abantu ab’omugaso.

Akakiiko kalina okulonda amannya 2 nga bano be bagenda okulondebwako ku Lwokutaano (enkya) olwo amannya gaabwe gaweerezebwe eri olukiiko lw’Abalabirizi.

Ensonda e Namirembe era zaategeezezza nti olukiiko lw’Abalabirizi olukulemberwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr Stephen Kazimba Mugalu, lugenda kutuula mu wiiki ejja ku Lweza Training and Conference Centre okulonda Omulabirizi wa Namirembe anadda mu bigere bya Bp. Wilberforce Kityo Luwalira aliko kati.

Kyokka Bukedde yagezezzaako okutuukirira Cansala w’Obulabirizi bw’e Namirembe, Fredrick Mpanga n’omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Namirembe Can Henry Segawa ng’essimu zaabwe ezimanyiddwa tebazikwata.

Abaateekayo okusaba kwabwe kuliko; Ssaabadinkoni w’e Nateete - Ven Godfrey BK Buwembo, omuwandiisi w’Obulabirizi bwa West Buganda - Rev Can Moses Kayimba, Ssaabadinkoni w’e Ntebe - John Gitta Kavuma ne Ssaabadinkoni w’e Luzira - Rev Can. Moses Banja.

Abalala kuliko Rev. Edward Stephen Kabanda - omusumba w’e Kiryagonja, Rev. Esau Bbosa Kimanje - Principal wa Uganda Martyrs Seminary Namugongo, Rev. Sebina Ssekiziyivu - omusumba w’e Namayumba, Rev Emmanuel Lutaaya - omusumba w’e Kisaasi, Dr. Titi Timothy Nsubuga akola mu Episcopal church mu USA ne Rev. Dr. Enock Kimanje - omusumba w’e Kawaala.

Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira agenda kuwummula nga December 8, 2023.
Omulabirizi Luwalira yasikira Samuel Balagadde Ssekkadde.

Omulabirizi Balagadde Ssekkadde ye yadda mu bigere bya Misaeri Kawuma eyasikira Dunstan Nsubuga.

Tags: