OLIISI e Mukono , ekutte abavubuka bana, abagambibwa okuteega omusawo ne bamukuba ekiti ku mutwe n'afiira mu ddwaaliro e Mulago.
Obulumbaganyi buno, bwabaddewo kawungeezi mu Baagala zooni mu Ggombolola y'e Ggoma e Mukono, abazigu abaabadde batambulira ku pikipiki , bwe basse Dr. Peter Mubiru ne bamunyagako n'ebintu bye.
Dr. Mubiru, abadde akolera mu ddwaaliro Happy Doctor clinic e Seeta. yakubiddwa ku wiikendi bwe yabadde adda awaka. Yafunye ebisago ebyamaanyi , n'afiira e Mulago.
Poliisi ekutte Abubkar Mususwa, Joshua Olowo, George Mayanja ne Umar Basibu , abagambibwa okuba amebaga w'ettemu lino.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso