Abantu babiri bafiiridde mu kabenje e Kanyale T/C ku luguudo oluva e Busunju okudda e Kiboga.
Akabenje, kaabaddewo ku ssaawa nga ssatu n'ekitundu ekiro, Fuso nnamba UBG 309E ng'eva Kampala okudda e Kiboga bwe yalumbye Drone nnamba UBJ 980M ng'etisse abasaabaze okuva e Kiboga okudda e Kampala, n'egikuba bubi nnyo n'egifuula emirundi.
Abaafudde kuliko Shaffick Mutyaba n'omwana omulenzi ow'emyaka 7 atannategeerekeka bimukwatako.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti abaalumiziddwa baatwaliddwa mu kalwaliro akamu e Busunju nga n'okunoonyereza kukolebwa