Amawulire

OMUSAJJA agambibwa okweyita omusirikale w'eggye erikuuma President n'atiisatiisa abantu n'ekibundu ekijingirire poliisi y'e Nateete emukutte

OMUSAJJA agambibwa okweyita omusirikale w'eggye erikuuma President n'atiisatiisa abantu n'ekibundu ekijingirire, poliisi y'e Nateete , emukutte.

Agambibwa okufere abantu n'ekimundu ekifu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA agambibwa okweyita omusirikale w'eggye erikuuma President n'atiisatiisa abantu n'ekibundu ekijingirire, poliisi y'e Nateete , emukutte.

Ono, kigambibwa nti asangiddwa  ne pisito enkolerere, omujoozi okuli ebigambo SFC / UPDF n'engatto ezeefaananyiriza ez'ekijaasi era nga bakyamukunya.

Akwatiddwa ye, Abdu Serugo 26 omutuuze w'e Kalule Bombo mu disitulikiti y'e Luweero.

Kidiridde abantu okwekubira enduulu ku poliisi, nga bwe waliwo omujaasi abadde abatiisa okubakuba amasasi e Busega ku luguudo lwa Nothern by pass, nti era poliisi y'e Nateete, kwe kumukwata , mu kumwaza, ne bamusanga n'ekibundu n'omujoozi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti y'aliba ku kibinja ekirudde nga kibba n'okutulugunya abasaabaze ku luguudo lwa Nothern by pass mu Kampala

Tags: