Amawulire

Abantu Musanvu bafudde n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Bushenyi.

By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu Musanvu bafudde n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Bushenyi. 

Akabenje kabadde Rushara e Kabwohe mu munisipaali y'e Sheema, mmotoka Toyota Fielder nnamba UA 702DL gy'egambibwa okutomera abantu ababadde bava mu kusaba kw'ekiro ku St. Rose Catholic Church e Rukinga Kabingo Kitooha ne Karushegu, n'ebatta n'okubalumya. 

Abafudde bonna tebannategeerekeka bibakwatako era ng'emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Kabwohe health centre 3 okugyekebejja. 

Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti ababiri abalumiziddwa batwaliddwa mu ICOBI hospital okufuna obujanjabi. 

Tags: