Abantu abasoba mu 100 abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze mu bitundu eby'enjawulo mu kubabba, okumenya amayumba n'okubba pikipiki, be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo.
Mu bikwekweto bino, poliisi ezudde ebyuma ebiwerako ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba, pikipiki ezigambibwa okuba enzibe, obwambe n'ebijambiya.
Mu zooni ya Mulimira ne Kyebando, poliisi e Kira Rd ekutte 31 . E Ntinda Kigoowa, poliisi esuuzizza ababbi ennyondo, obutayimbwa obudomola omuli petulooli era nga babiri bakwatiddwa okuva mu garagi.
Kigambibwa nti bano babadde mu lukwe lw'okwokya awantu olw'enkayana z'ettaka. Mu Nateete Kanaala zooni , waliwo akwatiddwa ne pikipiki 4 ezigambibwa okuba enzibe ne namba plates eziwerako.
E Ntebe Bunono ne Guda , 31 bayooleddwa, e Kasangati Wampeewo, Gayaza ne Kijabijo 47 bayooleddwa so ng'era mu kitundu kyekimu, waliwo babiri abakwatiddwa olw'okubba pikipiki okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire.