POLIISI e Soroti eriko abantu abalala babiri b'ekutte ku ttemu eryakolebwa kuwa Mobile money Patricia Konkunda , bwe baamukuba amasasi agaamuttira mu ppaaka mu wiiki nga bbiri eziyise .
Abakwatiddwa, kuliko Agnes Apolot 41 omutuuze we Akaikai Ogobai mu muluka gwa Arabaka e Soroti era ng'ono mukyala wa Justine Opali ali mu kkomera e Kitalya.
Omulala akwatiddwa ye Salume Akello ng'ono nyazaala wa Apolot era nga yennyina w'omu ku bagambibwa okuba abatemu mu musango guno, David Emenyu amanyiddwa nga Olipong.
Okusinziira ku kiwandiiko kya poliisi, abakwate basobodde okunnyonnyola poliisi engeri gye baaterekamu emmundu era n'amasasi 18 ne gazuulibwa mu ffumbiro.
Kitegeezeddwa nti family y'abantu bano, erudde nga yenyigira mu bubbi n'obutemu obwenjawulo nga beeyambisa emmundu eno nga nayo yazuuliddwa.