Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akuutide abantu ba Kabaka abawangaalira mu Bulaaya okunyweza obumu era beeyagalire mu buwangwa bwabwe.
Abawadde amagezi okunywerera ku kituufu n’obutawuliriza bannakigwanyizi abagezaako okubawuddiisa babaggye ku mulamwa. Abalabudde n’abategeeza nti abantu ab’ekika ekyo beenoonyeza byabwe.
Oweek Geoffrey Kibuuka (wakati) N'abamyuka be Oluvannyuma Lw'okutuuzibwa Katikkiro Mayiga.
Bino yabyogeredde mu ttabamiruka wa Bulaaya asoose (Buganda Bumu Europe Convention) eyayindidde mu kibuga London ekya Bungereza.
Ku mukolo gwe gumu, Katikkiro yatuuzizza mu butongole Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza ly’e Bungereza ne Ireland, Oweek Geoffrey Kibuuka n'Abamyuka be, era yajjukizza abami ba Kabaka n’abo be batwala nti omulembe gwakuzzaawo ebintu bya Buganda ebyali bitandise okusaanyizibwawo abo abataagala Bwakabaka.
Oweek. Kawuki abasabye okutwala obugenyi buno nga ensonga enkulu ennyo gye bali kubanga kabonero akooleka nti Ssaabasajja Kabaka abalowoozaako mu kaweefube w'okuzza Buganda ku ntikko.
Kabaka asiimye aba Rhinelands okutegeka ttabamiruka addako.
Ng’aggalawo ttabamiruka ono eyamaze ennaku ebbiri, Katikkiro yasiimye Owek. Saml Ssekajugo atwala essaza lya Rhinelands olw’obukulembeze obulungi bw’ayolesezza mu kukumaakuma n’okugatta abantu b’akulembera ssaako okubakubiriza okwekulaakulaanya.
Katikkiro Mayiga (wakati) Ng’akwasa Oweek. Sam Ssekajugo (ku Kkono) Atwala essaza Lya Rhinelands Bendera Okutuuza Ttabamiruka Addako.
Yategeezezza nga Kabaka bw’asiimye aba Rhinelands bategeke ttabamiruka addako n’akwasa Ssekajjugo bendera okukulemberamu enteekateeka.
Ssekajugo yakubirizza abantu ba Kabaka e bunaayira okukozesa tekinologiya okutambuza amawulire g'Obwakabaka mu butuufu n'okujungululanga obulimba.
Yabajjukiza ensonga ssemasonga ettaano ne yeebazizza nnyo Kabaka okubateerawo enteekateeka ebagatta nga abantu b’e bunaayira n’asiima ne Katikkiro okuwaayo obudde n’alabula abantu.
Abantu ba Kabaka abeetabye mu ttabamiruka ono baasanyukidde nnyo ebituukiddwako n'ebiteekebwateekebwa era ne basuubiza okubiwagira ennyo.