Museveni asuubizza abasomesa emisaala, basazizzaamu akeediimo

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abakulembeze b’abasomesa b’amasomo ga Arts, ne bakkaanya ku by’omusaala gwabwe, era ne bakkiriza okusazaamu akeediimo akaatandika nga June 6, 2025

Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet n’abamu ku basomesa abaamusisinkanye. Owookusatu ku ddyo ku batudde ye Minisita Muyingo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abakulembeze b’abasomesa b’amasomo ga Arts, ne bakkaanya ku by’omusaala gwabwe, era ne bakkiriza okusazaamu akeediimo akaatandika nga June 6, 2025
Ensisinkano eno yabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Mmande nga Pulezidenti yabadde ne mukyala we era minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni.
Museveni yagambye oluvannyuma lw’ensisinkano nti abasomesa baddeyo basomese, n’okugolola ebibuuzo by’abayizi ebigenda ku UNEB, nga Gavumenti bw’ekola ku
nsonga zaabwe.
Ebyavudde mu nsinsinkano ya Museveni n’abasomesa byayanjuliddwa minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti, Wilson Muruli Mukasa, minisita omubeezi
ow’Ebyenjigiriza avunaanyizibw  ku matendekero aga waggulu, John
C. Muyingo ne minisita omubeezi ow’ebyensimbi avunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga, Amos Lugoloobi, baatuuzizza olukung’aana lwa bannamawulire ku ssengejjero lya Gavumenti ery’amawulire erya, Media Centre mu Kampala, ne bongera okunnyonnyola ebyatuukiddwaako.
 Lugoloobi yagambye nti Gavumenti egenda kutandika okwongeza omusaala gw’abasomesa n’ebitundu  25 ku 100 mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/27 okumala emyaka ena nga buli mwaka bagenda babongeza, era emyaka egyo we ginaggweerako omusomesa ajja kuba atambula akaada.Yagambye nti bakyateesa ku
ky’emisolo egiggyibwa ku misaala gy’abasomesa, kubanga abasomesa baabadde baagala giggyibwewo, naye si kyangu kya kusalawo mu bwangu, naye nga Gavumenti yatandise dda okukiteesaako.
Ku ky’amayumba g’abasomesa, Lugoloobi yagambye nti Gavumenti asazeewo okuzimbira abasomesa abasoba mu 17,000 amayumba a’obwereera ag’okusulamu, nga gano gajja kugatta aba ssaayansi n’aba Arts. Era Gavumenti yaakuteeka obuwumbi 20 mu SACCO z’abasomesa, okubasobozesa okwewola nga bwe batereka, basobole
okukulaakulana. Ye minisita Muyingo yagumizza abasomesa nti ebisuubizo Gavumenti bye yakoze ejja kubituukiriza, n’abasaba okuteeka essira ku mirimu gyabwe, basomese abaana b’eggwanga.