Ssentebe wa Mpigi n’abakungu 2 babasibye

SSENTEBE wa LC 5 e Mpigi, Martin Ssejjemba, n’abalala 2 basimbiddwa mu kkooti, omulamuzi n’abasomera emisango gy’obulyake n’abasindika ku limanda mu kkomera eKigo okutuusa nga July 8, 2025.

Ssentebe Ssejjemba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSENTEBE wa LC 5 e Mpigi, Martin Ssejjemba, n’abalala 2 basimbiddwa mu kkooti, omulamuzi n’abasomera emisango gy’obulyake n’abasindika ku limanda mu kkomera e
Kigo okutuusa nga July 8, 2025.
Abalala kuliko ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu e Mpigi, Fredrick Kirumira, n’omuwandiisi omukulu ow’akakiiko akagaba emirimu e Mpigi, Sarah Nakamoga. Bonsatule baakwatibwa wiiki ewedde akakiiko aka State House akalwanyisa obuli bw’enguzi aka State House Anti Corruption unit. Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Mpigi, Valerian Tumuhimbise, ne baggulwako emisango egyekuusa ku
buli bw’enguzi ku bantu abasaba emirimu e Mpigi.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, bano emisango baagizza wakati wa January ne May omwaka guno mu bitundu by’e Mpigi.
Bwe yabadde atalaaga ebitundu ebikola Greater Mpigi, mu kulondoola enteekateka ya  DM, nga bw’etambula gye buvuddeko, Museveni yategeezebwa abamu ku bannamawulire abakolera mu kitundu bwe yali abasisinkanye mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero, nga bwe waliwo obutali bwenkanya mu kugaba emirimu ku disitulikiti ng’abamu ku bakulembeze n’abakungu b’akakiiko akagaba emirimu baggya ensimbi ku bantu abaagala emirimu.
Akakiiko kaasitukiramu ne kakola ekikwekweto era ne bakwata Kirumira, Nakamoga ne Ssejjemba ng’eggulo lwe baatwaliddwa mu kkooti, ne.basomerwa emisango egyo era ne bagyegaana