AKAKIIKO ka NRM ak'ebyokulonda kakoze enkyukakyuka mu nnaku z'okulonderako ababaka ba palamenti ne bassentebe ba disitulikiti mu kamyufu ka NRM nga kati olunaku lw'okulonda luzze ku 17 July 2025 okuva ku 16 July 2025 .
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi ze mu Kampala, ssentebe w'akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda Dr Tanga Odoi yategeezeza nti bagenze okukizuula nga olunaku lwa 16 July 2025 lwe baali baateekawo okulonderako lukontana n'okulonda kw'abakiise b'abaliko obulemu ab'okumagombolola okw'akakiiko ak'ebyokulonda ak'eggwanga era kino ne kibwaliriza okukola enkyukakyuka zino.
Kwame Rugunda yasunsudwa okuvuganya ku kifo Kya ssabawandiisi ku kakiiko k'abasuubuzi mu CEC
Mu ngeri y'emu era bakozeemu enkyukakyuka mu ngeri y'abeesimbyewo gye bagenda okukubamu kampeyini nga mu kino bawadde baminista , basipiika ba palamenti, kattikiro w'eggwanga, n'abamu ku bammemba ba 'CEC' enkizo okunoonya akalulu nga tebali ku kadaala ke kamu n'ababavuganya nga bwe kyabadde kirangiriddwa mu ntandikwa.
Akakiiko era kalangiridde nti bagenda kukola enkyukakyuka mu ngeri abalondesa ku disitulikiti gye batambuza emirimu nga mu kino baakwongera okubakubamu tooki era abo abanaabeera bazuulidwamu emivuyo bagenda kubakyusa okuva mu disitulikiti emu okubatwala mu ndala ousobola okuziba emiwaatwa gyonna egiyinza okuviirako kibba bululu .
Wabula okusunsula abeegwanyiza ebifo by'olukiiko olufuzi olw'ekibiina 'CEC' kukyagenda mu maaso nga ku basunsuddwa kuliko; David Calvin Echodu, ono nga avuganya Captain Mike Mukula ku kifo ky'omumyuka wa ssentebe wa NRM mu buvanjuba era nga yategeezezza nti bw'anaaba ayiseemu ku kifo kino waakuleeta enkulaakulana ey'omuggundu mu kitundu ekyo.
Adrien Kobusingye yasunsudwa okuvuganya ku kifo kya ssentebe w'olukiiko lw'abakyala ku CEC
Kwame Rugunda naye yasunsuddwa okuvuganya ku kifo kya ssaabawandiisi ku lukiiko lw'abasuubuzi ku 'CEC'.
Adrine Kobusingye, yasunsuddwa okuvuganya ku kifo kya ssentebe w'abakyala ku lukiiko olufuzi olwa 'CEC'
Okusunsulamu kuno kukomekkereza ku Lwamukaaga nga 5 July 2025 n'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okukwatira ekibiina bbendera okuvuganya ku kifo kya pulezidenti mu kalulu ka bonna aka 2026 n'okubeera ssentebe w'ekibiina kya NRM.