Abantu 10 bakwatiddwa ne baggalirwa okjkola olw'emivuyo mu kalulu ka NRM

Poliisi y’omubitundu bya Rwizi ekakasizza nga abantu 10 bwebagaliddwa mu kaduukulu oluvannyuma lwemivuyo egyabaluseewo mu kampeyini zakalulu ka NRM musazza lye Isingiro South mu disitulikiti ye Isingiro.

Ono yakubiddwa
By Fatumah Nagudi
Journalists @New Vision

Poliisi y’omubitundu bya Rwizi ekakasizza nga abantu 10 bwebagaliddwa mu kaduukulu oluvannyuma lwemivuyo egyabaluseewo mu kampeyini zakalulu ka NRM musazza lye Isingiro South mu disitulikiti ye Isingiro.

Emivuyo gino gyavudde kukulwanagana okwamanyi wakati wabawagizi ba Mp Alex Bakunda namwesimbyeko Mujuni Asensio Maari gwebali mumbiranye zokunoonya akalulu akanakwatira NRM bendera,era muno ebintu byayononeddwa omuli piki piki ne mmotoka okwokyebwa.

Samson Kasasira, omwogezi wa poliisi mubitundu bya Rwizi mu statement gyeyafulumizza eraga nti piki bbiri zayononeddwa ate bbiri endala namba UFZ 889Q ne UGA 309L zayokeddwa sako nemmotoka namba UBA 438X Toyota harrier nayo yayokeddwa.

Omubaka we Isingiro ng'ayogera ku mivuyo egikoleddwa

Omubaka we Isingiro ng'ayogera ku mivuyo egikoleddwa

kino kyadiridde abawagizi benjuuyi zombi okutomeregana mukyaalo Katanga mu gombolola ye Ruyanga kwekutandika okulwanagana nga nabamu bakoseddwa bali mudwaliro ekkulu e mbarara gyebafunira obujanjabi.

Mukino,Alex Byarugaba Bakunda yayise olukiiko lwabannamawulire okunyonyola kukyabaddewo,era ono yagambye nti abalumbye okuleetawo akavuyo nebakuba abantu n’okwokya ebintu tebyagudde bugwi,lwabadde lukwe nga luluke nga bali babalaganisa dda nti bakubalemesa okukola kampeyini.

Bakunda era agamba nti bino byona ebigenda mumaaso John Baptist Maari taata we gweyesimbyewo naye Mujuni Asensio Maari yabili emabega wabyo

Bino Mujuni Maari Asensio abiwakanyiza nagamba nti babasibako matu gambuzi kubaliisa engo.

Bakunda asabye abakulu mu kibiina kyabwe ekya NRM wabewo ekikolebwa okutaasa obulamu bwabantu okutuusibwako obulabe era nti balina okunoonyereza bamanye oyo yena ali emabega wemivuyo gino,agibwemu.

Mukaseera kano yadde nga wabulayo ennaku 12 zoka okulonda,kampeyini  z’omukitundu kino ziyimiriziddwa okusooka okulaba nti zekanyizibwa.