Yaaya Peter Ssematimba gweyazaalamu omwana ayongedde bwiino

YAAYA, Peter Sematimba gwe yazaalamu omwana ayongedde okumuwaako bwino. Amulojja bw’ali omusajja omuzibu, amukoze ebintu ebingi kyokka kuliko bibiri by’atalyerabira. Joan Namatovu 32, abeera e Lungujja mu munisipaali yé Lubaga agamba nti bwe yafuna omulimu gwa yaaya ewa Sematimba mu 2005, teyasooka kumanya nnyo Sematimba kugenda wala okutuuka mu 2007 nga mukyalawe avudde mu maka n’agenda e Bulaaya.

Yaaya Peter Ssematimba gweyazaalamu omwana ayongedde bwiino
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

YAAYA, Peter Sematimba gwe yazaalamu omwana ayongedde okumuwaako bwino. Amulojja bw’ali omusajja omuzibu, amukoze ebintu ebingi kyokka kuliko bibiri by’atalyerabira. Joan Namatovu 32, abeera e Lungujja mu munisipaali yé Lubaga agamba nti bwe yafuna omulimu gwa yaaya ewa Sematimba mu 2005, teyasooka kumanya nnyo Sematimba kugenda wala okutuuka mu 2007 nga mukyalawe avudde mu maka n’agenda e Bulaaya.

Nga muka Sematimba agenze mu Amerika, Namatovu agamba nti Sematimba yamuwa essanyu lye yali talowoozangako mu nsi, bwe yamulinnyisa eddaala n’amutuusa okwebakako mu kitanda kye era n’amubibiita nga mukyala we.

Wano Namatovu yeebaza Katonda okumuwa omusajja atasangika ate nga yooyo mu birowoozo gwe yali yeegomba edda kubanga yali amaze ebbanga ng’awulira Sematimba asomesa n’okwogera ku byomukwano ku leediyo naddaka ku Capital FM kwe yalina pulogulaamu ya ‘Capital Doctor’.

Buli lwe yabeeranga ne Sematimba mu mukwano, yalowoozanga ebintu bibiri, ekisooka y’engeri gye yafuuka mukyala wa bboosi. Mu ssanyu lye baalina yasalawo amuzaalire bbebi era ne bakyogerako.

Bwatyo n’afuna olubuto. Kyokka kye yewuunya ku Sematimba wadde yamufuula mukazi we, kyokka era yamuleka akyali yaaya. Agamba nti omukwano bwe gwakakata, Sematimba n’atandika okumujooga.

Aliko abawala be yaleetanga awaka olwo n’aleka Namatovu okuyonja enju n’obuliri mwe baasuze oba kye yayise okwewummuzaako emisana. Olwo nga Namatovu amutwala nga yaaya. Ate abawala bwe baagendanga, Namatovu ng’ali mu busungu olwa kye yayise Sematimba okumujooga n’aleeta baggya be awaka, ate olwo nga Sematimba aggyayo obukodyo bupya okubudaabuda n’okussa Namatovu mu layini ya laavu.

Olwo eyabadde yaaya ate n’amuwembejja nga mukazi we ‘omu bwati’. Ekyo Namatovu akiyita kyewuunyo kubanga abadde tawulirangayo musajja mulala akikola. Ekirala ekimwewuunyisa y’engeri Sematimba gy’akolamu omukwano.

Okusinziira ku Namatovu, Sematimba omukwano gwe tagukola ng’abasajja abalala naddala Abaddugavu b’amanyi. Era alowooza nti Sematimba yandiba ng’enkola ye ey’omukwano efaanana Bazungu okuva lwe yalwa ebbanga eddene e Bulaaya.

Agamba nti alina bingi by’ajjukira ku Sematimba. Olumu yayogera ku ssimu ne mukyala we ali ebweru nga ne Namatovu awulira n’amugamba aleete abaana be e Uganda. Bwe yagaana, Sematimba n’amugamba nti bw’anaasanga ng’alina abaana abalala b’azadde oba baakuzizza (adopting) takyewuunya kubanga ye Sematimba muntu w’abantu alina okubeera n’abantu.

Kino kyawa Namatovu amaanyi azaalire Sematimba omwana kubanga yalowooza nti bw’aba ayagala abaana naye Namatovu ajja kuyisibwa bulungi. Agamba nti kyokka bwe yafuna olubuto, byamusobera Sematimba bwe yamuggya awaka e Lubaga n’amupangisiza e Namasuba gye yava ate okupangisa e Lungujja ng’amaze okuzaala. Wano we yatandikira okusabira Sematimba ssente z’omwana n’atazimuwa ate n’addamu okumuwa omulimu gwa yaaya.

Ku luno, teyamukkiriza kubeera waka Lubaga, emirimu yagikolanga ava Lungujja n’agenda ewa Sematimba e Lubaga. Sematimba yasooka kumubadala ng’amuyisiza ddala nga yaaya kyokka oluvannyuma ne baddamu omukwano gwabwe. Ekizibu nga ssente z’amuwa za musaala gwa yaaya nga tayagala kumuwa za kulabirira wadde okumuwaayo ku ssente nga mukazi we.

Wano Namatovu agamba we yabuuliza Sematimba nti “omulimu omutuufu nkola mulimu ki mu maka go? Londawo kimu oba ndi yaaya oba ndi mukyalawo wabula ekibuuzo teyakyanukula.

Yagenda mu maaso ng’omukyala ate hawusigaalo. Sematimba omwana gwe yazaala mu Namatovu, muwala wa myaka 10. Omwana afuuse ensonga. Namatovu agamba nti yamumuggyako mu magezi teyamumuddiza ate Sematimba n’amutwala ne mu kkooti e Makindye ng’ayagala emutwale mu mateeka. Omusango gubadde gwa kuwulirwa wiiki ejja nga June 29.

Kyokka guyinza okwongezebwayo kubanga kkooti emisango emitono yagiyimirizza olw’omuggalo gwa corona.

Sematimba ng’ayita mu balooya ba M/S Mudawa and Kyogula Advocates, akkiriza nti yali mu mukwano ne Namatovu ogwavaamu omwana ayogerwako era mu kiseera kino Sematimba y’amulina. Kyokka ayagala kkooti emuwe olukusa okubeera naye mu mateeka.