YAAYA agambibwa okulabiikiriza ssente za mukama we ze yali aterese mu nnyumba n'ekiruubirirwa ky'okukola dduwa ya nnyina asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n'emusindika ku limanda e Luzira.
Sumaya Birungi 20, mutuuze w'e Nakulabye zzooni III mu munisipaali y'e Lubaga y'agasimbaganye n'omulamuzi Adams Byarugaba amusomedde ogw'okubba ssente n'agwegaana.
Birungi
Kigambibwa nti nga August 20, 2023 e Nakulabye, Birungi yabba ssente za Hajjati Nuruyat Nambale akakadde kamu n'ekitundu ng'ono ye yali amukozesa ogwa yaaya.
Hajati Nambale yategeezezza kkooti nti yeewuunya omuwala ono gwe yajja mu kyalo okukola nga yaaya n'amala n'amulinnyisa eddaala ly'okutandika okutunda emmere mu wooteeri kyokka obusente bw'abadde atereka okukola dduwa ya nnyina ate n'abubba.
Birungi yagambye nti ye ssente tazirabangako wabula olw'okuba teyabadde na bamweyimirira, omulamuzi yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga October 5, 2023 obujulizi butandike okuwulirwa.