OMUBAKA wa Buyaga West Barnabas Tinkasimire yegaanye eby’okwowemba n'ategeezza nti ababusabusa eby’okumubuzaawo bandibaako ekikyamu kubanga ye tayinza kwetekera kukubwa miggo gyamukubwa nga alaba.
Akawungezi ku lw’omukaaga, amawulire gatandika okusasaana nga galaga nga Tinkasimire bweyali abuziddwawo e Makerere ku mafuta ga Rubis wabula yo poliisi yavaayo netegeeza nti on temulina mu buddukulu bwayo.
Mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku palamenti, Tinkasimire agambye nti teyewambangako kubanga obujjulizi webuli mukatambi nga bamukaligga emiggo okumuyingiza drone.
Ebyamutuukako mu kuwambiwa, ono abinyumya nga firimu nti yatuuka n’okwegayirira abamukute mu luswahiri nga alowooza lwokka lwebategeera.
Tinkasimire agambye nti bonna abali emabega wa kino oba bamusuubira okumutiisatiisa okuva mu kalulu, siwakukavaamu kubanga akimanyi tewali ayinza mu mega.
Agambye nti wakuwabira gavumenti kubyamutusiibwako kubanga balinyirira eddembe lye nga omuntu awatali musango gwonna gumuvunanywa.