WINFRED Nakandi eyali yegwanyiza ekifo ky’omubaka wa Palamenti omukyala owa Kampala alangiridde nga bw’agenda okuvuganya mu kifo ky’omubaka wa Palamenti owa Nakawa East.
Gyebuvuddeko Nakandi yegwanyiza okukwatira ekibiina kya NUP bendera ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala mu palamenti kyokka n’alangirira nga bweyali avudde mu lw'okaano lw’okubinkanira kaadi y’ekibiina ku kifo kino.
Nakandi ng'ali mu lukiiko lw'abannamawulire
Nakandi avuddeyo n’alangirira mu butongole nga bw’akyusizza mu kifo ky’agenda okwesimbamu nga mu kiseera kino agenda kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti owa Nakawa East nga Talina kibiina kw’ajidde.
Ategezezza nga abantu ba Nakawa bwebamulinamu obwesige obw’amaanyi nga y’aila obusobozi okujjuza ekifo kino oluvannyuma lw’akibaddemu Eng. Ronald Balimwezo okulangirira nti takomawo mu kifo kino nga agenda kuvuganya mu kifo kirala.
Ategezezza nga bw’alina enkizo ey’amaanyi okutuukiriza ebirooto by’abantu ba Nakawa East kubanga mutuuze wa mu kitundu kino era nga aludde ebanga nga abantu bamulinamu obwesige.
Nakandi ng'alangirira
Ategezezza nga bw’agenda okufuba okulaba nga embeera z’ebyobulamu, amasomero, abakyala zitereezebwa kw’ossa n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavuvuka.
Asabye Gavumenti okutunula mu nsonga z’abasibe abaasibibwa olw’ebyobufuzi bayimbulwe basobole okubbinkana obulungi mu kalulu abantu basalewo abakulembeze babwe.
Kyokka akaatirizza nga bw’akyali omuwagizi w’ekibiina ki NUP nga era mwetegefu okugenda n’entekateeka zaKyo mu maaso.