Amawulire

Abakyala b'embuto mu muluka gw'e Butabika bawanjagidde Gavumenti okubateera eddagala mu ddwaliro

ABAKYALA b’embuto mu Muluka gwe Butabika bawanjagidde Gavumenti eyongere amaanyi mu kulondoola n’okuteeka eddagala mu malwaliro gayo kibayambeko okubanguyiza n’okufunanga obujanjabi obwetaagibwa mu budde.

Omubaka Balimwezi ng'ayogera n'abakyala
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

ABAKYALA b’embuto mu Muluka gwe Butabika bawanjagidde Gavumenti eyongere amaanyi mu kulondoola n’okuteeka eddagala mu malwaliro gayo kibayambeko okubanguyiza n’okufunanga obujanjabi obwetaagibwa mu budde.

Okuwanjaga kuno bakukoledde mu lussisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa aba Balimwezo Community Foundation ne banywanyi baabwe nga olusiisira lwatuumiddwa Faith Medical Camp olwabadde ku City Church e Butabika.

Rose Nakiboneka yategezezza nga abakyala ab’embuto bwebakyalina okusomoozebwa okw’amanyi olw’eddagala ettono eribeera mu malwaliro nga n’erisinga babalagira kuligula wabweru w’amalwaliro nga teririiwo.

Ategezezza nti waliwo n’okusomoozebwa kw’ebikozesebwa ebitono mu malwaliro omuli n’ebyuma bya sikaani ebikebera embeera embuto mweziri nti bino bitataaganya embeera y’obulamu bwabwe singa bibeera tebimala.

Omubaka Balimwezo ng'ayogera n'abakyala

Omubaka Balimwezo ng'ayogera n'abakyala

Asabye Gavumenti eyongere amanyi mu kulondoola engeri eddagala lino gyerituukamu mu malwaliro kiyambeko okubatangira ebizibu ebiyinza okuva mu kubulwa eddagala mu malwaliro.

Dr. Miriam Apiyo alaze okwennyamira olw’embeera y’obulamu eddiridde naddala mu bitundu eby’enzigotta n’asaba abantu okwongera okussa essira ku butya bwebasobola okutangiramu endwadde okusasaanamu.

Ategezezza nga abakyala b’embuto bwebatera okutataaganyizibwa ekirwadde kya Yinfekisoni n’asaba abakyala okwegendereza ennyo ku bintu byebalya ne byebakozesa.

Omubaka wa Nakawa East mu Palamenti era nga y’akulira Balimwezo Community Foundation, Ronald Balimwezo asabye Gavumenti eyongere amaanyi mu mbeera y’amalwaliro kubanga buli eby’obulamu lwebibeera wansi n’enkulakulana ebeera ntono.

Pasita Wilberforce Bezudde nga y’akulembeddemu entekateeka eno asabye abantu bulijjo okwongera okutambulira awamu kiyambeko mu kukuuma obulamu bw’abantu.

Tags: