Amawulire

Bye wasubiddwa mu mpaka za Pass PLE Quiz ezitegekebwa Bukedde

Abayizi n'abasomesa b'essomero lya Blue Pine Primary School Katooke,  baasagambizza oluvannyuma lw'okulangirirwa mu bwannantameggwa bw'empaka za Bukedde PASS PLE Quiz 2025.

Bye wasubiddwa mu mpaka za Pass PLE Quiz ezitegekebwa Bukedde
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Abayizi n'abasomesa b'essomero lya Blue Pine Primary School Katooke,  baasagambizza oluvannyuma lw'okulangirirwa mu bwannantameggwa bw'empaka za Bukedde PASS PLE Quiz 2025.

Abayizi nga batakula obwongo okuddamu ebibuuzo

Abayizi nga batakula obwongo okuddamu ebibuuzo

Empaka zaabadde ku ssomero lya Kitante Primary School , nga zeetabidwaamu amasomero 47 okwetooloola  eggwanga.

Ku mutendera gwa fayinolo, waabaddewo okutakula emitwe  mu basomesa abakugu abaabadde  basala empaka oluvannyuma lw'essomero lya Blue Pine okubeera nga basibaganye ne St. Peters’ Nsambya era okukkakkana nga bano baweereddwa ekibuuzo ki ‘vva ku ngabo.

Waabaddeyo n'empaka z'okwoza engoye nga bakozesa ssabuuni wa Classic Lavender akolebwa aba Chapa general enterprises

Waabaddeyo n'empaka z'okwoza engoye nga bakozesa ssabuuni wa Classic Lavender akolebwa aba Chapa general enterprises

Buli ssomero lyaweereddwa ekibuuzo ky’okubala kimu era gye byaggweeredde nga Nsambya ekibuuzo bakigudde olwo Blue Pine ne balangirirwa ku buwanguzi.

Zaagenze okuwera ssaawa 3:00 ez'okumakya ng’abasomesa bamaze okutuusa abayizi baabwe okwetaba mu mpaka zino ez'obwongo.

Akulira Vision Group, Don Wanyama ng'ayogerako eri abaana n'abasomesa

Akulira Vision Group, Don Wanyama ng'ayogerako eri abaana n'abasomesa

Buli ssomero libadde lirondwamu abayizi 4, okulikiikirira era abayizi baavuganyirizza mu masomo okubadde Math,  English,  Science ne SST.

Omutendera ogusooka gwagenze okuggwa ng'amasomero 10, ge gayiseemu okugenda ku mutendera gwa kkoota era ku bano 4 , okubadde St. Peters Nsambya P/s, One heart  p/s Busiika, Blue Pine Primary School Katooke ne Nsangi Nursery and Primary School  Makerere nga gayiseemu.

Ebimu ku birabo aba Chapa Enterprises bye baaleese okugabira abakola obulungi.

Ebimu ku birabo aba Chapa Enterprises bye baaleese okugabira abakola obulungi.

Akulira Vision Group Don Innocent Wanyama , agamba nti Vision Group okuyita ku mikutu gyayo egy'enjawulo yeewaayo okutumbula ebyenjigiriza era n’asiima amasomero gonna ageetabyemu bw’atyo n’ayozaayoza abaanywedde mu bannaabwe akendo.

Akulira Olupapula lwa Bukedde, Michael Mukasa Ssebowa,  agambye nti empaka zino ezitegekebwa  Bukedde okuyita mu katabo ka PASS PLE  zigendererwamu okwongera okuteekateeka abayizi ba P7 abagenda okutuula ebibuuzo bya kamalirizo n'okusobola okwekebera bwe bayimiridde.

Essanyu nga litta abayizi ba Busega Preparatory school olwa munnaabwe okwanukula ekibuuzo

Essanyu nga litta abayizi ba Busega Preparatory school olwa munnaabwe okwanukula ekibuuzo

Ssebowa era ategeezezza nti buli ssomero eryetaba mu mpaka zino liba litwalibwa nti liwanguzi kubanga abayizi mu bibuuzo ebibuuzibwa bafunamu nga bayigiramu ebintu okuli okumanya enseetinga y'ebibuuzo n'engeri gye basobola okubyanukulamu.

Empaka za PASS PLE ez'omwaka guno ziwagiddwa aba Chapa general enterprises ne Sumz.

Tags:
Amawulire
Bukedde
Mpaka
PLE
Pass PLE
Quiz