Amawulire

Matian Lwanga Bwanika alangiridde kyazzaako oluvannyuma lw'obutafuna card ya NUP

SSENTEBE wa disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika oluvannyuma lw’okummibwa kaadi ya NUP, asazeewo avuganye ku bwa nnamunigina ku kifo ky’omubaka wa Busiro South.   

Matia Lwanga Bwanika ng'alaga akabonero k'essaawa
By: Ssaava Peter, Journalists @New Vision
SSENTEBE wa disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika oluvannyuma lw’okummibwa kaadi ya NUP, asazeewo avuganye ku bwa nnamunigina ku kifo ky’omubaka wa Busiro South.
 
Ono yategeezezza nga bwagenda okukozesa akabonero k’essaawa kyokka nti kino tekigenda kumuggya mu kibiina kye ekya NUP era nti agenda kuba anonyeza Pulezidenti we akalulu asobole okuwangula entebe y’obwa pulezidenti.
 
Bwanika ng’asinziira mulukungaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso,yategezezza nti okummibwa kaadi kyavudde ku nkola etali nnungamu eyayitiddwamu akakiiko akagaba kaadi.
 
Bwe yabuziddwa lwaki yajeemedde ekibiina najja ku bwannamunigina ng’ate ekibiina kyabagamba basimbe emabega wabawereddwa kaadi, nagamba nti enkola eyayitibwamu okusunsula abaagala kaadi teyamumatiza ng’akakiiko kaakola byako.
 
“Baatutereddewo akakiiko akatunula mu nsonga zaffe, naye nze saakagenzemu kuba kaawereddwa ennaku ntono ate kaabadde kajja kujuliza abakulembera ekibiina, ate nga nkimanyi bulungi bonna bali ne pulezidenti wange banoonya kalulu.” Bwanika bweyayongeddeko.
 
Yategeezezza nti kyokka singa Pulezidenti w’ekibiina kye Robert Kyagulanyi Ssentamu amukubira ku kasimu, ajja kukkriiza okwogerako naye balabe ekiddako, nti kyokka kino akilabamu okusomoozebwa kuba Kyagulanyi ali mu kampeyini kati.
 
Yabuziddwa ku ky’okuba nti Kayagulanyi yegobako bannabyabufuzi abaava mu DP, nagamba nti ekibuuzo kirungi nnyo nti kyokka tuyinza kukibuuza bakulu mu kibiina kya NUP nga bebamanyi kwe baasinzidde okusalawo bwebatyo.
 
Bwanika yebazizza nnyo bannakibiina kya NUP awamu n’abantu ba Wakiso
olw’okumusaamu obwesige n’abakulembera nga ssentebe wabwe ekisanja ekigenda okugwgwako era nalaga nti okujja okuvuganya ku ky’obubaka yasooka kwebuuza ku bakulu abawerako.
 
“Nnayogera ne pulezidenti wange Kyagulanyi nemmubulira ekituufu ku lwaki nnali nsazeewo nve ku disitulikiti era nemmutegeeza ensonga kwenasinziira  nansuubiza okwongera okubyekeneenya.” Bwanika bweyayongeddeko.
Yagambye nti obumanyirivu  bwafunye ku disitulikiti nga Ssentebe  bwabugattako
okubeera nga azaliddwa mu Busiro South, amanyi bulungi byagenda okutandikirako singa aba awereddwa omukisa nafuuka omubaka w’ekitundu ekyo.
Yannyonnyidde nti  weyafukira ssentebe wa disitulikiti ya Wakiso, distulikiti za Uganda zaali zifuna zifuna ebitundu 17 ku 100 ku sente za bajeti y’eggwanga era nasaba ababaka bamuyambe batuuse eddoboozi mu paalanenti ssente zeyongereko.
Yategezezza nti mu paalamenti alabayo ntalo zokka nga omubaka yekka atusizza ensonga za Gavumenti ez’ebitundu mu Paalamenti ye Betty Ethel Naluyima nga kino kimusitudde afuuke omubaka ow’okubiri okutuusa ensonga zino eri bekikwatako.
Godfrey Kasakya Semuwemba, ssentebe wa NUP mu Kajjansi Tawuni Kanso
yategezezza nti asazeewo okwegatta ku Bwanika kuba gwalabyemu obumanyirivu, ssaako okumalawo ebizibu ebituuse mu Busiro South emyaka 10 kati.
Lubwama Mukubabyasi nga ssentebe w’omuluka gwa Namulanda yalaze nti ekitundu kizze nnyo emabega olw’okubeera n’ababaka abatalaga makulu ga kitundu kino, nga ababaddeyo bonna babadde bakkusa mbuto zaabwe
Tags: