MUNNAKATEMBA Obeid Lubega amanyiddwa nga Reign asabye Katikkiro Charles Peter Mayiga okumugumya oluvannyuma lw’okulemwa okufuna kkaadi ya NUP okwesimbawo.
Reign, y’omu ku baasanyusizza abantu mu Kaliisoliiso Dinner era olwabase akazindaalo, yasoose kutegeeza Katikkiro nga bw’ataafunye kaadi ya NUP, avuganye ku kifo kya Lubaga South mu Palamenti.
Yakomekkereza asabye Katikkiro, poloti eya 50 ku 100 e Mmengo agumireko.