Amawulire

Aba boda bakoze effujjo ku mukunguwa Gavt. n’akola akabenje akaamusse

ABA bodaboda bakoze effujjo ku mukungu wa Gavumenti, okukkakkana ng’atomedde ekiseminti ekimuviiriddeko okufa.

Aba boda bakoze effujjo ku mukunguwa Gavt. n’akola akabenje akaamusse
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

ABA bodaboda bakoze effujjo ku mukungu wa Gavumenti, okukkakkana ng’atomedde ekiseminti ekimuviiriddeko okufa.

 

Derrick Ambrose Mugweri 35, ng’abadde akola ne minisitule y’ebyobusuubuzi, amakolero n’ebibiina by’obwegassi, akabenje akaamusse yakafunidde Najjeera mu munisipaali y’e Kira mu Kampala, ku Ssande nga September 28, 2025, bwe yabadde avuga mmotoka ye ekika kya Harrier ng’agenda mu mmisa kumakya.

Kalina Y'omugenzi Gy'abadde Azimba

Kalina Y'omugenzi Gy'abadde Azimba

Okusinziira ku ssenga w’omugenzi, era omubaka wa Uganda mu Palamenti ya East Africa, Veronica Babirye Kadogo, omugenzi bwe yabadde agenda mu Mmisa, yatomeregana n’owa bodaboda ku luguudo, bwe yavaamu okugonjoola embeera, aba bbooda ne batandika okukung’aana nga boogerera waggulu, abamu bwe baamutiisatiisa okumukolako obulabe, kyamuwaliriza okubeetegula avuge agende ku poliisi ensonga gye baba bazimalira.

Bwe yalinnye mmotoka ye agende ku poliisi, aba bodaboda baalowooza nti agezaako kudduka kwe kumusimbako ne bamugoba nga bwe bamwekiika mu maaso n’okufunza ekkubo okukkakkana ng’atomedde ekifunvu, emmotoka ne yeefuula emirundi esatu.

Nnamwandu W'omugenzi

Nnamwandu W'omugenzi

Abadduukirize baamuggyeemu ne bamuddusa e Mengo mu ddwaaliro, kyokka bwe baamutuusizzaayo abasawo ne bakabatema nti yafudde dda. Mugweri yaziikiddwa ku kyalo Namukunhu mu ggombolola y’e Bugaya mu Buyende, wakati mu maziga okuva mu b’eng’anda, abatuuze ne bakama be mu minisitule gy’abadde akolera.

 

Abakungubazi baavumiridde effujjo ly’aba bodaboda erisusse, nga amateeka kati bagatwalira mu ngalo ne basaba Gavumenti ebeeko ky’ekola okukomya effujjo lino kubanga ab’ebidduka abalala batambulira ku bwa Katonda, olw’aba bodaboda abasusse effujjo n’obutagoberera mateeka ga ku nguudo.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Mugweri abadde ofiisa avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi, ate nga ye muyambi wa minisita omubeezi ow’ebibiina by’obwegassi, Frederick Ngobi Gume.

Tags:
Amawulire
Bbooda
Mukungu
Gavumenti
Kukola
Ffujjo
Mugenzi